African Storybook
Menu
Kabali ataasa kitaawe
Annet Ssebaggala
Benjamin Mitchley
Luganda
Awo olwatuuka, ne wabeerawo omulenzi omuto gwe baayitanga Kabali. Yabeeranga ne kitaawe eyayitibwanga Byansi.
Byansi yasiibanga mu kunywa mwenge era ewaka yaddanga obudde buyise nnyo. Bambi ne mutabani we Kabali yazibuwalirwanga okumulaba.
Byansi bwe yakomangawo eka mu matumbibudde, ng'akoowolera wagulu abantu b'oku kyalo nti, "Abatuuze! Abatuuze! Mujje muntaase. Empisi endya."
Abatuuze bwe bawulirang enduulu, nga bavaayo n'obusaale, amafumu n'amajambiya okutaasa Byansi. Wabula baasanganga Byansi atamidde, era ng'abadde abatawaanya butawaanyi.
Byansi teyalekayo kunywa era ng'atamiira n'atawaanyanga abatuuze nga abalimba nga bw'alumbiddwa empisi. Abatuuze nabo baagenda mu maaso okujjanga n'obusaale, amafumu n'amajambiya okumutaasa. Naye nga tebasangawo mpisi. Wabula nga Byansi abeera abatawaanya butaawanyi.
Buli mulundi Byansi lwe yaddanga eka mu ttumbi, Kabali ng'enduulu za kitaawe ez'okwagala okumuyamba nga zimuzuukusa. Kabali yali amanyi bulungi eddoboozi lya kitawe. Era yamuwuliranga ng'avuya mu nzikiza, okutuusa bwe yatuukanga ku mulyango gw'enju yaabwe.
Ekiro ekimu, Byansi yadda ewaka nga mutamiivu nga bulijjo. Wabula ku mulundi guno, empisi yaliko weyali yeekwese okumpi n'enyumba ye. Empisi bwe yawulira nga Byansi atambula, n'ebuukayo n'emulumba!
Byansi n'awoloma nnyo era nga bw'ayita abatuuze okumuyamba! Abatuuze ne bagamba nti, "Tukooye obukodyo bwa Byansi. Atutawanya butawanyi." Era bwe batyo ne beekyusiza mu buliri bwabwe ne beeyongera okwebaka.
Naye nga buliijo, okuwoggana kwa Byansi kwazukusa mutabani we Kabali. Nga bulijjo Kabali yatega okutu awulire oba nga kitaawe anaavuya nga bulijjo. Naye ku luno yagenda okuwulira nga kitaawe alinga atasemberera nnyumba! Awo Kabali n'atuula ne yeeyongera okuwuliriza ennyo.
Kabali n'agamba nti, "Kitange ali mu buzibu. Ku luno tali mu kusaaga."
Kabali yabuuka omulundi gumu okuva mu buliri bwe. Yabaka ekisi ky'omuliro ekyaka n'aggulawo n'afuluma ebweru ng'adduka.
Yadduka nga bw'aleekaana nti, "Taata! Taata." Mu kitangaala ky'omwezi, Kabali yalaba kitaawe ng'alwanagana n'ensolo era n'awanika ekisiki ky'omuliro. Empisi bwe yalaba omuliro ogwaka n'edduka.
Awo empisi bwe yalengera ekisiki ky'omuliro, n'edduka.
Okuva olwo, Byansi teyaddamu kunywa mwenge. Era ebiseera bye ebisinga yabimalanga agerera abaana b'amasomero engero ezinyuma.
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Kabali ataasa kitaawe
Author - Kanyiva Sandi
Translation - Annet Ssebaggala
Illustration - Benjamin Mitchley
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs
© African Storybook Initiative, 2014
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org
Menu
  • Navigate

    Navigate through the story by swiping right or left or clicking when the cursors changes to an arrow on the right or the left edge of the screen.

    Tap or click on the centre of the page to see, or remove the menu bars at the top and the bottom of the screen. You can also use the ESC key.

    You can use the slider at the bottom as a way to move quickly through the story. On a mobile device tap on the slider before you drag the slider button.

    Click or tap to return to African Storybook.

  • Share
    If you have a Twitter or Facebook account, you can share this story on your page or a page you manage. You can also copy the web link (URL) for this story.
    • Twitter
    • Facebook
    • Url
  • Rate
    Other visitors rated this story

    Tell us how much you liked the story – drag the scroller to highlight one or more stars
    • Submit
  • Comment
    Read other people’s comments on the story, or add your own.
    • Enter your comment
    • Name
    • E-mail
    • Post
  • Translations and adaptations
    • አባቱን የታደገው ጥላሁን
      Amharic (Translation)
    • Musau saves his father
      English (Original)
    • Musau and his father
      English (Adaptation)
    • Mukiza na se.
      Kinyarwanda (Translation)
    • Mukiza na Se
      Kinyarwanda (Translation)
    • Musa na Se
      Kinyarwanda (Translation)
    • Musau bóyír tàr wov
      Lámnsoʼ (Translation)
    • Amagu Pa Ima Ati
      Lugbarati (Translation)
    • Musalu Awonesa Paapawe
      Lumasaaba (Translation)
    • Musa Ataasa Semwana
      Lunyole (Translation)
    • Musa ni laata we
      Lusoga (Translation)
    • Abalu iko monyonyi ꞌTakaya
      Otuho (Translation)
  • Download to read
    Landscape version
  • Download to print
    Portrait (booklet) version
  • Download EPUB