Kabali ataasa kitaawe
Kanyiva Sandi
Benjamin Mitchley

Awo olwatuuka, ne wabeerawo omulenzi omuto gwe baayitanga Kabali.

Yabeeranga ne kitaawe eyayitibwanga Byansi.

1

Byansi yasiibanga mu kunywa mwenge era ewaka yaddanga obudde buyise nnyo.

Bambi ne mutabani we Kabali yazibuwalirwanga okumulaba.

2

Byansi bwe yakomangawo eka mu matumbibudde, ng'akoowolera wagulu abantu b'oku kyalo nti, "Abatuuze! Abatuuze! Mujje muntaase. Empisi endya."

3

Abatuuze bwe bawulirang enduulu, nga bavaayo n'obusaale, amafumu n'amajambiya okutaasa Byansi.

Wabula baasanganga Byansi atamidde, era ng'abadde abatawaanya butawaanyi.

4

Byansi teyalekayo kunywa era ng'atamiira n'atawaanyanga abatuuze nga abalimba nga bw'alumbiddwa empisi.

Abatuuze nabo baagenda mu maaso okujjanga n'obusaale, amafumu n'amajambiya okumutaasa. Naye nga tebasangawo mpisi.

Wabula nga Byansi abeera abatawaanya butaawanyi.

5

Buli mulundi Byansi lwe yaddanga eka mu ttumbi, Kabali ng'enduulu za kitaawe ez'okwagala okumuyamba nga zimuzuukusa.

Kabali yali amanyi bulungi eddoboozi lya kitawe. Era yamuwuliranga ng'avuya mu nzikiza, okutuusa bwe yatuukanga ku mulyango gw'enju yaabwe.

6

Ekiro ekimu, Byansi yadda ewaka nga mutamiivu nga bulijjo.

Wabula ku mulundi guno, empisi yaliko weyali yeekwese okumpi n'enyumba ye.

Empisi bwe yawulira nga Byansi atambula, n'ebuukayo n'emulumba!

7

Byansi n'awoloma nnyo era nga bw'ayita abatuuze okumuyamba!

Abatuuze ne bagamba nti, "Tukooye obukodyo bwa Byansi. Atutawanya butawanyi."

Era bwe batyo ne beekyusiza mu buliri bwabwe ne beeyongera okwebaka.

8

Naye nga buliijo, okuwoggana kwa Byansi kwazukusa mutabani we Kabali. Nga bulijjo Kabali yatega okutu awulire oba nga kitaawe anaavuya nga bulijjo.

Naye ku luno yagenda okuwulira nga kitaawe alinga atasemberera nnyumba! Awo Kabali n'atuula ne yeeyongera okuwuliriza ennyo.

9

Kabali n'agamba nti, "Kitange ali mu buzibu. Ku luno tali mu kusaaga."

10

Kabali yabuuka omulundi gumu okuva mu buliri bwe.

Yabaka ekisi ky'omuliro ekyaka n'aggulawo n'afuluma ebweru ng'adduka.

11

Yadduka nga bw'aleekaana nti, "Taata! Taata."

Mu kitangaala ky'omwezi, Kabali yalaba kitaawe ng'alwanagana n'ensolo era n'awanika ekisiki ky'omuliro.

Empisi bwe yalaba omuliro ogwaka n'edduka.

12

Awo empisi bwe yalengera ekisiki ky'omuliro, n'edduka.

13

Okuva olwo, Byansi teyaddamu kunywa mwenge.

Era ebiseera bye ebisinga yabimalanga agerera abaana b'amasomero engero ezinyuma.

14
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Kabali ataasa kitaawe
Author - Kanyiva Sandi
Translation - Annet Ssebaggala
Illustration - Benjamin Mitchley
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs