Mwami Nsowera Ne Mwami Bontwe
Rebecca Kuteesa
Joshua Waswa
Luganda


Ono ye Mwami Nsowera.
Ono ye Mwami Bontwe.
Mw. Bontwe ne Mw. Nsowera baali ba mikwaano nnyo. Olumu bagenda okutambulako bombi.
Bweb'atuuka ku lubalama lw'omugga, ne batandika okukaayana bokka na bokka nti, "Tosobola kubuuka mugga guno!" "Nsobola! Yegwe atasobola!"
Mw. Nsowera n'amugamba nti, "Kale buuka!" Ko Mw. Bontwe nti, "Nedda, gw'oba osooka okubuuka." Awo Mw. Nsowera n'abuuka omugga.
Ye Mw. Bontwe bwe yabuuka yagwa bugwi mu mugga. Era, olw'obunene bw'omutwe gwe; yatandika okubira mu mugga.
Ye Mw. Bontwe bwe yabuuka yagwa bugwi mu mugga. Era, olw'obunene bw'omutwe gwe; yatandika okubira mu mugga.
Mw. Nsowera n'asekka nnyo nti, "Ha ha haaaaa!" Yasekka nnyo era okukakana nga omumwa gwe guyulis'emu bibiri okuva kuluda olumu paka ku lulala!
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Mwami Nsowera Ne Mwami Bontwe
Author - Dorothy Fetaru
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Joshua Waswa
Language - Luganda
Level - First sentences
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Joshua Waswa
Language - Luganda
Level - First sentences
© African Storybook Initiative 2014
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org

