African Storybook
Menu
Wankima alya omukira gwe
Samson Nabbimba
Horácio José Cossa
Luganda
Awo olwatuuka nga Wakayima yefunirayo mukwano gwe eyali ayitibwa Wankima.
Olunaku olumu Wakayima y'agamba mune nti, "Leka twetambulireko twenonyeze eky'okulya." Wankima naye teyagaana era nakiriza, naye nga ako kaali katego kebaali bamuteze.
Tebaalwa nga batuuka mu musiri gwa'kasooli nga batandika kweriira.
Naye Wakayima eyali omugezigezi y'ali amaze okuteesa ne bananyini musiri bakwaate Wankima ono alagibwe nga bweyali omusirusiru.
Baali bakyaali awo, Wakayima natandika okulekaana enyo nti, "Ababbi! Ababbi! Kasooli wamwe yenna awedewo!" Awo Wakayima yabuukabubuusi nga yedukira nga agenda.
Amangu ago bananyini musiri gwa kasooli baatuuka era baasanga Wankima agezaako kuduka agende. Naye ate yalina omukira muwaanvu nyo nga gumulemesa okuduka.
Awo bananyini musiri nabo baatandika okumugoba, nga bwebaleekaana nti, "Yimirira! Yimirira! Twakulabye, yegwe Wankima."
Awo nebamukwaata nebatandika okumukuba emigo.
Olw'obulumi obungi era Wankima nabagamba nti, "Nabade ne mukwano gwange Wakayima. Yeyampise okujja."
Naye bananyini musiri nebamutemako omukira gwe era nebamugamba nti, "Genda ogambe mukwano gwo nti tukutemyeko omukira gwo!"
Olwaava awo ngabagenda munyumba ya Wakayima nga batandika kufuumba mukira gwa Wankima basobole okugulya.

Awo Wakayima naayita Wankima naye ajje alye ku ky'emisana.
Nga bamaze okulya, Wakayima n'abuuza Wankima oba ddala kyalidde akitegede. Wankima omusiru naye nadamu nti, "Nedda, simanyi."
Awo Wakayima namugamba nti yali alidde mukira gwe era olwamala okwogera naduka n'agenda. Era okuva olwo buli omu n'afuuka mulabe wa mune!
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wankima alya omukira gwe
Author - Mozambican folktale
Translation - Samson Nabbimba
Illustration - Horácio José Cossa
Language - Luganda
Level - First paragraphs
© Mozambican Writers 2014
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org
Menu
  • Navigate

    Navigate through the story by swiping right or left or clicking when the cursors changes to an arrow on the right or the left edge of the screen.

    Tap or click on the centre of the page to see, or remove the menu bars at the top and the bottom of the screen. You can also use the ESC key.

    You can use the slider at the bottom as a way to move quickly through the story. On a mobile device tap on the slider before you drag the slider button.

    Click or tap to return to African Storybook.

  • Share
    If you have a Twitter or Facebook account, you can share this story on your page or a page you manage. You can also copy the web link (URL) for this story.
    • Twitter
    • Facebook
    • Url
  • Rate
    Other visitors rated this story

    Tell us how much you liked the story – drag the scroller to highlight one or more stars
    • Submit
  • Comment
    Read other people’s comments on the story, or add your own.
    • Enter your comment
    • Name
    • E-mail
    • Post
  • Translations and adaptations
    • Monkey eats his own tail
      English (Original)
    • Monkey eats his own tail (Colour-in)
      English (Adaptation)
    • Le singe lui mange la queue
      French (Translation)
    • Inkawu itya umsila wayo
      isiXhosa (Translation)
    • Inkawu itya umsila wayo (Faka imibala)
      isiXhosa (Adaptation)
    • Wankima alya omukira gwe (Colour-in)
      Luganda (Translation)
    • Enkiima eliile omukiira gwaa yo
      Lugwere (Translation)
    • Wankembo alya omukira gwe (Colour-in)
      Lusoga (Translation)
    • Ekadokot Lo Anyami Ekosim Keng.
      Ng’aturkana (Translation)
    • O Macaco Que Comeu a Sua Própria Cauda
      Portuguese (Translation)
    • Enkyende erire omukira gwayo
      Rukiga (Translation)
    • A Hawu Yiga a Mudoza Wa Yona
      Xitswa (Translation)
  • Download to read
    Landscape version
  • Download to print
    Portrait (booklet) version
  • Download EPUB