Wankima alya omukira gwe
Mozambican folktale
Horácio José Cossa

Awo olwatuuka nga Wakayima yefunirayo mukwano gwe eyali ayitibwa Wankima.

1

Olunaku olumu Wakayima y'agamba mune nti, "Leka twetambulireko twenonyeze eky'okulya."

Wankima naye teyagaana era nakiriza, naye nga ako kaali katego kebaali bamuteze.

2

Tebaalwa nga batuuka mu musiri gwa'kasooli nga batandika kweriira.

3

Naye Wakayima eyali omugezigezi y'ali amaze okuteesa ne bananyini musiri bakwaate Wankima ono alagibwe nga bweyali omusirusiru.

4

Baali bakyaali awo, Wakayima natandika okulekaana enyo nti, "Ababbi! Ababbi! Kasooli wamwe yenna awedewo!"

Awo Wakayima yabuukabubuusi nga yedukira nga agenda.

5

Amangu ago bananyini musiri gwa kasooli baatuuka era baasanga Wankima agezaako kuduka agende.

Naye ate yalina omukira muwaanvu nyo nga gumulemesa okuduka.

6

Awo bananyini musiri nabo baatandika okumugoba, nga bwebaleekaana nti, "Yimirira! Yimirira! Twakulabye, yegwe Wankima."

7

Awo nebamukwaata nebatandika okumukuba emigo.

8

Olw'obulumi obungi era Wankima nabagamba nti, "Nabade ne mukwano gwange Wakayima. Yeyampise okujja."

9

Naye bananyini musiri nebamutemako omukira gwe era nebamugamba nti, "Genda ogambe mukwano gwo nti tukutemyeko omukira gwo!"

10

Olwaava awo ngabagenda munyumba ya Wakayima nga batandika kufuumba mukira gwa Wankima basobole okugulya.

Awo Wakayima naayita Wankima naye ajje alye ku ky'emisana.

11

Nga bamaze okulya, Wakayima n'abuuza Wankima oba ddala kyalidde akitegede.

Wankima omusiru naye nadamu nti, "Nedda, simanyi."

12

Awo Wakayima namugamba nti yali alidde mukira gwe era olwamala okwogera naduka n'agenda.

Era okuva olwo buli omu n'afuuka mulabe wa mune!

13
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wankima alya omukira gwe
Author - Mozambican folktale
Translation - Samson Nabbimba
Illustration - Horácio José Cossa
Language - Luganda
Level - First paragraphs