Gumusinze (Oluyimba mu Luganda)
Uganda Christian University and Vivian Nantambi
Rob Owen
Luganda

Edda enyo, waliyo omukyala omukadde eyali abeera ne bazukulu be basatu.
Buli kumakya bagenda nga okola mu nimiro.
Naye olunaku lumu, omu kubawala yagamba nti, "Jjaja, sewulila bulungi leero."
Naye olunaku lumu, omu kubawala yagamba nti, "Jjaja, sewulila bulungi leero."
Awo, namukadde omwana namusindika adde ewaka.
Omuwala we yatuuka eka, yalaba ennyama mu nsuwa.
Yonna n'agirya oluvanyuma neyebaka.
Yonna n'agirya oluvanyuma neyebaka.
Namukkadde n'abaana ababiri we bakomawo okuva munimiro baali bakooye era nga enjala ebaluma.
Jjaja nafumba ugali we kyeggulo, okumulya ne nnyama gye yali afumbye kumakya ennyo.
Jjaja nafumba ugali we kyeggulo, okumulya ne nnyama gye yali afumbye kumakya ennyo.
Yasaanukula ensuwa okujulira bazukulu be.
We yasaanukula ensuwa eyalimu ennyama, yali nkalu!
We yasaanukula ensuwa eyalimu ennyama, yali nkalu!
"Ani yalidde ennyama?" JJaja yabuza, nga akambuwadde.
Naye bona abazukulu abasaatu banyenya mitwe gyabwe. "Sinze," buli omu nga agamba.
Naye bona abazukulu abasaatu banyenya mitwe gyabwe. "Sinze," buli omu nga agamba.
Awo jjaja naasiba omuguwa ebusukka wo mugga.
Nagamba buli omu agutambulireko nga wayimba oluyimba.
Nagamba buli omu agutambulireko nga wayimba oluyimba.
"Eyalidde ennyama ajakugwa mu mugga, ayige okwogera amazima," Jjaja n'agamba abaana.
Omuzukulu omuwala eyasooka naatambala mangu naasala omugga nga yimba oluyimba.
Omuzukulu omuwala eyasooka naatambala mangu naasala omugga nga yimba oluyimba.
Oluyimba lwali weluti: "Wemba nga nze eyalidde ennyama omuguwa kagukutuke gunsuule munyanja
kangwe ebuziba mu nyanja omuguwa kagukutuke gunsuule munyanja."
kangwe ebuziba mu nyanja omuguwa kagukutuke gunsuule munyanja."
Awo bali abazukulu ababiri ne batandika okuyombagana.
Omuwala nagamba omulenzi, "Gwe abaddako." Omulenzi namuddamu nti, "Nedda gwe abaddako!"
Omuwala nagamba omulenzi, "Gwe abaddako." Omulenzi namuddamu nti, "Nedda gwe abaddako!"
Omuzukulu e'yali alidde ennyama yali atidde nga akankana.
We yalinya maaso akutambulira kumuguwa, yaseerera nagwa mu mugga.
We yalinya maaso akutambulira kumuguwa, yaseerera nagwa mu mugga.
"Nyamba! Nyamba!" Omuwala yaleekaana.
JJaja nagamba bali ababiri nti, "Oyo gumusinze, naye tuyina okumuyamba."
JJaja nagamba bali ababiri nti, "Oyo gumusinze, naye tuyina okumuyamba."
Wamu ne basikayo omuwala eyali atidde okuva mumugga.
Okuva olwo bazukulu banamukadde boogera amazima.
Okuva olwo bazukulu banamukadde boogera amazima.
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Gumusinze (Oluyimba mu Luganda)
Author - Jacinta Recha
Translation - Uganda Christian University and Vivian Nantambi
Illustration - Rob Owen
Language - Luganda
Level - First paragraphs
Translation - Uganda Christian University and Vivian Nantambi
Illustration - Rob Owen
Language - Luganda
Level - First paragraphs
© African Storybook Initiative 2015
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org