Omwana Omwagalwa
Annet Ssebaggala and Ritah Katetemera
Brian Wambi
Luganda

Awo olwatuuka, newabaaawo omusajja nga alina omukyaala. Baalina abaana abalenzi mukaaganomuwala omu yekka.
Omwana owobuwala bamutuuma erinnya Natabo. Abazadde bombi baayagala nnyo Natabo okusinga abaana abalenzi.
Omwana owobuwala bamutuuma erinnya Natabo. Abazadde bombi baayagala nnyo Natabo okusinga abaana abalenzi.
Abazadde baabumba akasuwa akatono akokuzanyisa nebakawa Natabo.
Olunaku lumu abaana abalenzi bakwaata akasuwa ka Natabo nebakayasayasa obutundutundu nebabukanyuga mu nsiko.
Natabo yanoonya akasuwa naye nekabula. Bwaatyo yanyiiga nnyo era nakaaba nagaana nokulya emmere.
Yagamba taata, maama, nebanyina bonna bamunonyeze akasuwa ke. Bonna bamugamba nti tebamanyi gyekali.
Yagamba taata, maama, nebanyina bonna bamunonyeze akasuwa ke. Bonna bamugamba nti tebamanyi gyekali.
Natabo yeyongera okunyiiga naava awaka nagenda mu kibiira naalinnya omuti omuwanvu ennyo.
Abazadde baatandika okunoonya omwana waabwe owobuwala. Oluvanyuma baamusanga ku muti waggulu mukibira.
Baamuyita ave ku muti akke wansi kyokka omwana yagaana.
Baamuyita ave ku muti akke wansi kyokka omwana yagaana.
Oluvanyuma banyina bonna bajja nebatandika okuyimba oluyimba nga bamugamba akke wansi.
Bayimba bwebati, "Omugalanda waffe. Kka wansi tugende Tujja kufuna akasuwa akalala."
Bayimba bwebati, "Omugalanda waffe. Kka wansi tugende Tujja kufuna akasuwa akalala."
Omuwala naddamu naayimba nga bwabayeyereza. "Ninini-ninio, ninini-ninio. Ninini-ninio, ninini-ninio."
Natabo yalemera ku muti. Bamutumira mukwaano gwe asobole okumusikiriza okuva ku muti.
Mukwano gwe yayimba bwati, "Mukwaano gwange, kka wansi tugende. Tujja kufuna akasuwa akalala."
Mukwano gwe yayimba bwati, "Mukwaano gwange, kka wansi tugende. Tujja kufuna akasuwa akalala."
Amangu ago Natabo naava ku muti. Yakka mpola mpola.
Mukwano gwe yayongera okuyimba okutuusa Natabo lweyava ku muti nakka wansi.
Mukwano gwe yayongera okuyimba okutuusa Natabo lweyava ku muti nakka wansi.
Natabo ne mukwano gwe baasanyuka nnyo buli omu naagwa mune mu kifuba.
Baatambula mpolampola nebaddayo eka.
Baatambula mpolampola nebaddayo eka.
Bwebatuuka eka abazadde baasanyuka nnyo okulaba omwana waabwe omwagalwa.
Baategeka embaga nnene enyo. Baayita abenganda, abaliranwa, nabemikwano nebalya nebanywa era nebazina.
Baategeka embaga nnene enyo. Baayita abenganda, abaliranwa, nabemikwano nebalya nebanywa era nebazina.
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Omwana Omwagalwa
Author - Ritah Katetemera and Mulongo Bukheye
Translation - Annet Ssebaggala and Ritah Katetemera
Illustration - Brian Wambi
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs
Translation - Annet Ssebaggala and Ritah Katetemera
Illustration - Brian Wambi
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs
© African Storybook Initiative 2016
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org
Creative Commons: Attribution 4.0
Source www.africanstorybook.org