Lwaki Wakikere mubi nnyo
Mozambican folktale
Hélder de Paz Alexandre

Emyaka mingi emabega, Wamunya ne Wakikere baali bamukwano.

Lunaku lumu baasalawo okugenda okunoonya abaagalwa mu kibuga.

1

Wakikere yalina obuggya olw'okuba nti wamunya yali mubalagavu nnyo.

2

Wakikere yagamba, "Wakola ki okunyirira bwotyo? Ntunulira, ndi mubi nnyo. Nkole ntya olususu lwange?"

3

Wamunya nagamba, "Wuliriza! Teka amazzi mu nsuwa ogateke ku muliro. Ekidako, o....."

4

Naye Wakikere nagamba, "Ekyo mbadde nkimanyi. Sirika, mukwano." Nagenda.

5

Yatuuka e waka n'ateeka amazzi mu nsuwa.

6

Amazzi bwegaatandika okwesera, neyebbikamu.

7

Olususu lwe lwona lwagya n'omukira negukutukako.

8

Mu kifo ky'okubeera omujagujagu era omubalagavu ng'omunya, yafuuka kkangabaana!

9
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Lwaki Wakikere mubi nnyo
Author - Mozambican folktale
Translation - Ritah Katetemera
Illustration - Hélder de Paz Alexandre
Language - Luganda
Level - First sentences