Lwaki Nabbubi Erina Obugulu Munaana Obutono
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Awo olwatuuka, newabaawo Nabbubi, eyalina mukyalawe eyali amanyi kufumba emmere obulungi ennyo. Naye Nabbubi, yayagala nga nnyo okuloza ku mmere eyabeeranga efumbidwa amaka amalala ku kyalo ekyo.

1

Olumu n'agenda ko mu nnyumba y'AKamyu. Akaamyu ne Nabbubi baali ba mikwano nnyo. Ooo! Entamu yo elimu enva endirwa, ate nga nzagaala nnyo" ko Akamyu nekaddamu nti; era zinateera okujja, sigala tulye ffembi. Nandiyagadde naye nina eby'okola ebirala, Nabbubi nga bwe yeyanguyiriza kubanga yamanya nti bwe nelinda emmere okuujja, Akamanyu kandigiwa emirimu egy'okukola; yo ky'etaayagala."

2

Nabbubi nagamba nti; ka nzigirile oluwuzi lwange ku ntaamu yo, ne kukuggulu kwange, awo enva bwe zinaaba ziyidde bulungi nga osika oluwuzi; era bwentyo nange njakujja nziruka.  Awo Akamyu ne kakiriza ekiteeso, kubanga kakiraba nga ekyo ky'amagezi nnyo era bwe kyaali.

3

Eee! Mpulira akawoowo k'ebijjanjalo, Nabbubi nga bwewunyiriza era nga bw'enoonya akawoowo entamu gye kavaa mu. Jjangu tuliire wamu ebijjanjalo byaffe, binatera okujja. "Enkima nga bwe yita Nabbubi.   "Nandyagadde nnyo Mwami Nkima " Nabbubi nga bwe ddamu; era netteesa okuzingirila oluwuzi lw'ayo kuntamu y'ebijjanjalo ne kukuggulu kw'ayo; kimuyambe okumanya, oba ebijjanjalo biyidde.   Era Enkima nekiriza kubanga yalaba nga amagezi gaali malungi. Era bwe kyaali."

4

Nabbubi newunyiriza akawoowo ka lumonde n'omubisi, neyebuuza yoka wa gye kali kava. Awo Enjiri neyita mukwano gw'ayo Nabbubi, ne mugamba nti "entaamu yange ejjudde lumonde n'omubisi, jjangu tugabane ffembi."   Nandyagadde nnyo munange Njiri, nga Nabbubi bwe ddamu, era netteesa okuzingirila oluwuzi lw'ayo kuntamu y'alumonde n'omubisi ne kukuggulu kw'ayo; kimuyambe okumanya, oba emmere eyidde. Era Enjiri nelaba nga ekyo ky'amagezi nnyo. Era bwe kyaali.

5

Awo ekiseera bwe ky'atuuka, nga Nabbubi atuuse ku mugga ya kizuula nti ku maggulu ge omunaana, buli kumu kwali kusibidwaako oluwuzi. Yalaba nga ago amagezi gaali malungi nnyo, era nga bwe y'ebuuza nti; "oba ntaamu ki en'esooka okujja?" Amangu ago n'awuulira okusikibwa kwo oluwuzi olumu ooo! Awo nasanyuka nnyo era namanya nti kwaali kuva ku ntamu y'akamyu okwaali enva endiirwa.

6

Eee! Nawulira okusikibwa okulala era n'okulala, awo Nabbubi nakizula nti yali yakasibikwa amaggulu assatu omulundi gumu.  Amangu ago Nabbubi nesikibwa okuggulu okw'okuna, era n'ogw'okutaano n'ogw'omukaaga, n'okw'omusanvu era n'okw'omunaana. Nabbubi yasikikbwa enjuyi zonna nga buli omu bwasiika oluwuzi lwalina amaggulu negasikibwa nga bwe gatoniwa era negeyongerera ddala okutoniwa nga bwe basika.

7

Amangu ago Nabbubi ne yekulula negwa mu mugga, nga ewuzi zonna zikutuse. Nabbubi neyesiika mpola mpola nnyo mu bulumi obungi okutuuka ku lubalama lw'omugga.  Ooo, ooo, Nabbubi n'ekizuula nti amagezi geyali akozeseza tegaali malungi n'akamu.  N'okutuuka ne kakano obugulu bwa Nabbubi butini nnyo era nga buwanvu nnyo. Era kw'olwo Nabbubi teyalya ku mmere yonna olunaku lwonna.

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Lwaki Nabbubi Erina Obugulu Munaana Obutono
Author - Ghanaian folktale
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs