Wankoko omukumpanya
Vincent Afeku
Wiehan de Jager

Edda, ebisolo byaberanga wamu.

Byakuŋŋaana okulonda kabaka.

1

Wankoko yayagala okubeera kabaka.

N'alimba nti alina omuliro.

2

Ebisolo byamukiririzaamu.

Ne bimulonda nga kabaka.

3

Enkuba lweyatonya.

Buli kimu kyatoba era nekinyogoga.

4

Akamyu kwekubuuza nti, "Tusangawa omuliro ok'webugumyako?"

5

Wankima naddamu nti, "Tugugye ku mutwe gwa Wankoko."

6

Ebisolo nebituma Wakibe okunona omuliro ku mutwe gwa Wankoko.

7

Wakibe yasooberera obutazuukussa Wankoko.

8

Yayissa ebisubi ebikalu ku mutwe gwa Wankoko.

Nebitakwata muliro.

9

Wakibe kwekubogoka nti, "Zuukuka Wankoko! Twetaaga omuliro."

10

Wankoko ng'olwo talina muliro gwakuwa Wakibe.

11

Wakibe yanyiga nnyo.

Kuv'olwo, Wakibe alya Wankoko.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wankoko omukumpanya
Author - Vincent Afeku
Translation - Sharon Nirere
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - First words