Wanfuddu ne kamujje baali bagala sente
Nebakola esowaani ez'okutunda mu katale
Bwebaali mukatale wanfuddu nalaba abalwana
Kamujje n'egeege bebaali balwana
Wanfuddu kwekulekaana, "vva kumukwano gwange!"
Egeege kwekuluma wanfuddu ennyindo
Ennyindo gyebalumako kati emuluma
Yensonga lwaki wanfuddu alina ennyido engongobavu