Wambwa ne Waggoonya
Candiru Enzikuru Mary
Rob Owen

Olumu ku mugga, Wambwa agenda agwa ku maggi mu mussenyu.

Yebuuza, "Oba wansolo ki eyalesse amaggi gano wano?"

1

Yabala amaggi kkumi naasuubiriza nti gandiba nga ga wambaata.

Yagateeka mu nsawo ye.

2

Yatwala amaggi ewuwe nagateeka mu kifo ekibuguma.

3

Wambwa bwe yaddayo ku mugga, yasanga Maama Waggoonya. Yamubuuza, "Walabyeko ku maggi gange?"

Wambwa namudamu nti, "Silina kye mmanyi ku maggi go."

4

Waggoonya yatandiika okukyalira buli wansolo ng'abuuliriza ku maggi ge.

5

Ng'ebyo bikyali awo, amaggi ggo gaayalula limu ku limu.

6

Wambwa yakola buli kisoboka okulabirira bu aggoonya obuto naye emmere teyabamalanga.

Bu aggoonya bwaberanga buyala.

7

Olumu Waggoonya agenda ewa Wambwa nga anoonya amaggi ge.

Ng'ayimiridde wabweru, yawulira okuvuuma kw' embuto za bu ggoonya obuto.

8

Waggoonya yayingira n'obusungu nakuba Wambwa n'omukira gwe.

Wambwa ya ttema omulanga nabuuka mu ddirisa.

9

Waggoonya yamugoba paka ku mugga.

10

Wambwa yakaaba namwetondera nti, "Nsonyiwa, saamanya nti amaggi gaali gago!"

11

Waggoonya yamukiriza era namusonyiwa.

Era naatwala nabaana be okubayigiriza okuwuga omulundi ogusooka.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wambwa ne Waggoonya
Author - Candiru Enzikuru Mary
Translation - Charles Mary Bwanika
Illustration - Rob Owen
Language - Luganda
Level - First paragraphs