Aku ne ice cream we
Agnes Gyening-Asiedu
Offei Tettey Eugene

Lunaku lumu, Mama yali afumba. Nayita, "Abena, Ajua, Akwasi, Aku, emere eyidde! Muleete amasowani!"

Maama yawa buli omu matooke. Nabawa ne ku nyama. N'abagamba nti, "Mugende mutule mulye."

1

Aku yatunulira matooke we, n'atunulira supu we, n'atunulira enyama ye, n'ateeka esowani ye wansi mu bunyivu n'akaaba. Maama n'abuuza, "Aku, olina kikyamu ki?"

"Enyama yange yesinga obutono," Aku n'amudamu. Maama n'amugamba, "Naye gwe asinga obutono!"

2

Aku n'akaaba okusingawo. Aku neyekasuka ku ttaka.
Maama yali tayagala Aku kukaaba. Nayita enyo, "Abena, Ajua, Akwasi, muleete emere yamwe mangu!"

Bona baaleta emere yabwe. "Kati Aku, londako enyama gyoyagala," maama na'agamba.

3

Aku yasanyuka. Yatunuulira enyama ya Akwasi naloowoza, "Enyama ya Akwasi nga nenne!"

N'atunulira ddala enyama y'Ajua. "Eya Ajua nga neneko!" N'alowooza.

Yetegereza enyama ya Abena. Yeyali esinga obunene. N'agamba maama we nti yali ayagala nyama ya Abena.

4

"Abena, enyama yo giwe Aku otwalemu eyiye," maama namugamba. Abena teyali musanyufu. Teyayagala kunyiza maama. Enyama ye n'agiwa Aku.

"Mmmm, eno enyama ejja kuba mpoomu," Aku n'agamba. Yatuula ku katebe naalya nga musanyufu.

5

Pii! Pii! Omusajja wa ice cream yeyali wabweru. Yavuga nga eggaali ennene nga eriko akagoombe akatono.

Aku yali ayagala nnyo ice cream. "Abena, leeta ensawo yange," maama n'agamba. Abena n'aleeta ensawo ya'maama.

6

"Ice cream nya bambi," maama nagamba omusajja wa ice cream. Nasasula nawa buli mwana ice cream.

"Emu, biri, satu, nya," Aku yabala. Yatunulira ice cream we nga mutini. N'atunulira owa Akwasi, nga owuwe amusinga ko obutini.

7

Yeetegereza ice cream wa Ajua. Yeyali asinga obutini mu zona. N'asanyuka.

"Ice cream wange yasinga obunene," n'aloowoza.

"Lindako, nina okulaba ice cream wa Abena naye." Yasembera kumpi ne Abena. Yayasama naakaaba.

8

Maama n'amubuuza kye yali abadde.

"Ice cream wa Abena asingako owange obunene," n'akaaba. Maama nagamba, "Aku oli muwala wamululu."

Aku n'akaabira ddala okusingako. Neyeesuula mu ttaka. Maama teyali musanyufu. Teyayagala Aku akaabe.

9

Maama n'agamba Abena, "Bambi, ice cream wo muwe Aku otwalemu owuwe."

Abena tekyamusanyusa, naye teyayagala kujjeemera maama. Ice cream yamuwa Aku. Amaaso ga Aku negayakayakana ne ssanyu. Yatunuulira ice cream omunene n'amwenya.

10

"Mmmm, ono ice cream afanana bulungi," Aku n'agmba. Yayasama n'alumako. "Ajish!" Yawoggana nawandula ice cream.

"Ate olubadde?" Maama n'abuuza. "Ono ice cream akaawa," Aku n'awoloma.

11

Maama yakwata ice cream wa Aku n'amulumako.
Y'esisiwala. "Waliwo ekikyamu ku ice cream ono, yayononese," n'agamba.

Maama nayongerako, "Aku ngo'labye, tojja kusobola kufuna mulala. Kati olaba nti kibi okubeera n'omululu?"

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Aku ne ice cream we
Author - Agnes Gyening-Asiedu
Translation - Taremwa Trevorr, Uganda Christian University
Illustration - Offei Tettey Eugene
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs