Nabbubi Omunafu
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Awo olwatuuka, ne wabaawo Nabbubi ayitibwa Anansi. Nabbubi ono yali munafu nnyo nga tasobola na kufumba.

Ye kye yakolanga ng'agenda n'akyalira banne n'alya ku mmere yaabwe gye baabanga bafumye era ng'emuwoomera nnyo.

1

Lwali lumu n'ayita kumpi n'amaka ga Wakamyu n'awulira akawoowo k'ekintu kye yali afumba. Bwe yawulira akawoowo n'asembera alabe era n'agamba n'essanyu lingi nti, "Nva ndiirwa!"

Wakamyu kwe kumuddamu nti, "Tezinnaba kuggya, naye osobola okunnyabako okwoza ebintu nga bwe tuzirinda ziggye."

Anansi n'addamu nti, "Nsonyiwa nnina eby'okukola, nja kudda edda."

2

Wakamyu kye yava abuuza Aansi nti, "Nnaakuyita ntya ng'enva ziyidde?" Anansi yasirikamu n'alowooza, kye yava addamu nti, "Ŋηenda kweggyako akawuzi nkazingirire ku kugulu kwange ate ekitundu ekirala nkizingirire ku sseffuliya yo. Enva bwe zinaggya ng'osika akaguwa ako era nange nja kujja mbiro."

Anansi bw'atyo n'asiba akawuzi ke ku sseffuliya n'agenda.

3

Oluvannyuma Anansi ate yalaba Wankima ne mukyala we nga bafumba ebijanjaalo mu sseffuliya ennene. Wankima ne mukyala we bwe baalaba Anansi kwe kumuyita nti, "Jangu tulye, emmere enaatera okuggya."

Anansi n'abaddamu nti, "Munsonyiwe nnina eby'okukola." Kino yakyogera tebannaba na kumusaba kugenda kubayambako. Ate awo n'agamba nti, "Ka nsibe akawuzi kano akamu ku kugulu kwange, n'ekitundu ekirala nkisibe ku sseffuliya yammwe. Ebijanjaalo bwe binaggya nga musika akaguwa kano nga nzija tulya."

4

Anansi teyakoma awo, yeeyongera okutambula okutuusa ate bwe yawulira akawoowo k'obummonde. Mukwano gwa Anansi Walimu ye yali afumba era n'amuyita ng'agamba nti, "Sseffuliya yange ekubyeko obummonde n'omubisi gw'enjoki. Jangu tuliire wamu. Ne wuuma yiino wano nnyambaako okutabulamu."

Anansi n'amuddamu mangu nti, "Nja kudd edda. Naye nga sinnagenda, ka nsibe akawuzi kano ku kugulu kwange n'ekitundu ekirala ku sseffuliya yo. Obummonde bwe bunaggya, ng'osika akaguwa ako nga nzija nga tulya."

5

Anansi we yatambulira okutuuka ku mugga nga buli kumu ku magulu ge omunaana kusibiddwa ku sseffuliya erimu emmere ewooma obulungi.

Aba ali awo n'awulira akamusika ku kumu ku magulu ge. Kye yava ayogera ng'eno bwe yeekomba emimwa nti, "Emmere ya Wakamyu eyidde!"

6

Teyalwa ate n'awulira nga n'okugulu okw'okubiri bakusika, n'okwokusatu, n'okwokuna, n'okwokutaanu, n'okwomukaaga, n'okwomusanvu, n'okwomunaana.

Mu kiseera kye kimu buli omu yali asika akaguwa ke yaleka asibye ku sseffuliya ez'enjawulo! Kye yava bambi akaaba nga bw'aleekaana ate mu bulumi obungi nti, "Mulekere awo! Mulekere awo!" Ebyo yabyogera ng'eno amagulu ge bagaleeguula naye nga tewali ayinza kumuwulira nti akaaba.

7

Obuwuzi bwatuuka ekiseera ne bunafuwa era bwe butyo ne bukutuka kamu ku kamu. Anansi kye yava yeesuula mu mugga aweweeze ku magulu ge agaali gamubabirira.

Naye bambi amagulu ge gaali tegakyasobola kudda mu mbeera yaago. Anansi yali awulira obuswavu bungi era nga takyasobola kugenda wa mukwano gwe n'omu kulya mmere ku olwo.

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Nabbubi Omunafu
Author - Ghanaian folktale
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Read aloud