Wakikere Ne Wamusota
John Emongot
Rob Owen

Edda ennyo, Wakikere ne Wamusota baali bamukwano nnyo.

Baali ba mulirwano nga nabaana babwe bazanyira wamu.

1

Lwali lumu, Wakikere nagamba Wamusota, "Mukwano gwange, njagala kukyalira maama wange wiki ejja. Wandiyagadde okugenda nange?"

2

"Eee, naasanyuka," Wamusota yaddamu. "Kirungi nnyo, kati twetegekere olugendo lwaffe oluwanvu," Wakikere naddamu.

Naye twetaga okufuna an'alabirira amaka gaffe nga tetuliiwo.

3

Basaba Wankima okubayambako engeri gyeyali omulungi era ow'obuvunanyizibwa, Wankima yakiriza.

4

Enaku ezaddirira, baazimala betegekera olugendo.

Wakikere yakunganya enswa naaziteeka muttu kuba maama we yaziwomerwanga nnyo.

5

Olunaku olwadirira bakeera nnyo era mangu ddala nebatuuka ku kibira ekikwafu.

Bwebakiyingira, bukamujje ne bubalumba.

6

Wamusota yatya nnyo nakankana.

Yasiiya nasiiya naye bukamujje bweyongera kusembera jaali.

7

Bwaali bunatera okubabukira, Wakikere na'kabira wagulu nyo bukamujje ne budduka.

8

Bagenda okutuuka ku bugenyi, nga bakoowu era nga bayala nnyo.

Maama wa Wakikere n'abawa omukeeka batuuleko nga bwategeka emmere.

9

Emmere bweyatuuka ne banaaba mungalo zaabwe ne batuula okulya.

10

Nga tebannalya mmere, Wakikere yagamba, "Gwe Wamusota, tojja kulya mmere ng'ogalamidde. Ne maama wange tayagala muntu wa mpisa mbi."

11

Wamusota yagezaako nnyo okutuula naye yalemererwa.

12

Mu kiseera ekyo wakikere ne maama we baali bagenda mumaaso okulya emmere.

13

Wamusota yegayirira nnyo Wakikere.

Kyokka Wakikere yagaana okuwuliriza.

14

Wamusota yanyiiga nnyonasalawo yeddireyo eka era nokisiibula teyasiibula.

15

Bweyali addayo eka n'afuna ekirowoozo eky'okuwa Wakikere ekibonerezo.

16
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wakikere Ne Wamusota
Author - John Emongot
Translation - John Emongot
Illustration - Rob Owen
Language - Luganda
Level - First paragraphs