Wakikere Ne Wamunya
Mozambican folktale
Emily Berg

Emyaka mingi emabega, Wamunya ne Wakikere bali bamukwano. Olunaku lumu baabayita ku kabaga.

1

Wakikere yatunurira Wamunya nawulira obujja anti Wamunya yali mulungi nnyo.

2

Wakikere yabuuza Wamunya nti ''Wakolaki okunyirira bwotyo? Ntunulira, nze ndi mubi nnyo nkolentya olususu lwange?

3

Wamunya namugamba nti "Wuliriza, bwetuddayo eka, sena amazzi ogateeke munsuwa ogateke kumuliro." Ekidako.

4

Wakikere teyalinda kumumalirayo teyagenda na kukabaga yadduka buddusi natuuka eka.

5

Yasooka kusirikirira nalowooza naye nga obujja bumulumira mukwano gwe Wamunya olw'obulungi bwe.

6

Yasalawo nateeka amazzi munsuwa nassa ku muliro.

7

Amazzi bwegatandika okwesera, neyebikamu.

8

Ha! Ekyatuuka ku Wakikere, olususu lwe lwona lwajja nomukira negukutukako.

9

Mukifo kyokubeera omujagujagu era omubalagavu nga Wamunya yafuuka kkanga baana Kitalo!

10
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wakikere Ne Wamunya
Author - Mozambican folktale
Adaptation - Parents, Librarians, Teachers of Kabubbu pilot site.
Illustration - Emily Berg, Hélder de Paz Alexandre, Rob Owen
Language - Luganda
Level - First sentences