Nabbubi Ew'abanttu Engelo
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Edda enyo katonda w'ebile "Golola" yakuumiranga engelo zonna mu sanduuko ey'ebibaawo gye yasibiranga wagulu mubire. Abanttu kunsi baabelanga mu kunyolwa olw'okubulwa engelo ez'okugera. Awo ne basaba omugezi gezi w'abwe "Nabbubi" okubayamba.

1

Nabbubi n'akozesa oluwuzi lwe oluwanvu n'ayambukka mubire okusisinkana Katonda w'ebire. "Nsoobola okufuna ku ngelo ezo Ssebo?" Nabbubi n'ebuzza Katonda w'ebile. Naye Golola namusekerela nyo era n'amugamba nti, "Engelo zino nga z'abuseele, era tosoboola na kuzisasulira sebbo Nabbubi."

2

Nabbubi kyeyava amubuuza nti, "Kye taagisa ki okuzifuna?" Ko Golola nti, "Olina okundetela ensolo enkambwe ezitalabika labika ssatu. Engo eyamanyo amasongovu, Ekivuvumila ekiluma abanttu n'Omusotta ogumila omunttu omulamba." Golola n'aseka nyo, kubanga yamanya nti engelo ze z'ali tezisobolwa kutwalibwa.

3

Nabbubi n'akilira n'akomawo kunsi era nga bwalowooza egeri jayiinza okuyiiyamu okukwaata Engo? Nabbubi n'esima ekinya ekiwanvu, n'ekibikako amattabi n'akadongo, n'agenda okulya ekyegulo ewuw'ekka. Kumakya Engo ya gisanga egudde mumutego gwe, nga bw'eyetala n'okukwagula emabali g'ekinya naye nga tesobola kukivaamu.

4

"Oo mukwano gwange, kankuyambe," Nabbubi nga bw'agigamba okugalamila ku butti agisibe olwo alyoke gisiike mukinya. Nabbubi yasiba Engo n'oluwuzi lw'ayo n'emusika pakka mubile n'emulaga Kabaka w'ebile. Naye Golola yaseka busesi, n'ebuuza nti, "Ebilala ebibiri biriwa?''."

5

Awo Nabbubi n'ekomawo kunsi era nga bwelowooza engeli ey'okukwatamu Ekivuvumila? Nabbubi n'efuna endeku ejudde amazzi n'egenda kumuti Ebivuvumila webyabela nga. Amazzi agamu n'egayiwa mu kisusunku ky'Ekivuvumila, ne kisala olulagala ne ky'ebbikirila ku mutwe, amazzi agali gasigade mu ndeku n'egeyira gona.

6

N'eyita nti, "Kivuvumila jangu olabe! Enkuba etonya! Yanguwa oyingile mu ndeku yange oleme kutoba" omanyi ebivuvumila tebyagala kutoba. Era bwe by'awulira byona ne bibuuka okuyingira mu ndeku ya Nabbubi.

7

Amangu ago n'esanikira endeku n'oluwuzi lwe Ebivuvumila bileme kufuluma. Nabbubi nabyo n'ebyambusa mu bile e'wa Kabaka Golola. Naye Golola n'abuuza nti, "Ekisigade yo kiriwa?" Naye kulona nga taky'aseka nnyo nga luli.

8

Nabbubi n'ekomawo ku nsi. "Kunsi nsobola ntya okukwata omusotta ogusobola okumila omunttu omulamba?" Nabbubi nga bw'ebuza mukyala we. Omukyala yalina ekiteeso ekirungi. Bombi ne bafuna ettabi eddene, eliwanvu nga ligumu bulungi. Bwe b'atukka okumpi n'omuga Omusotta we gw'abeeranga, ne batandika okukaayana. "Ettabi lye lissinga obuwanvu!" "Nedda sily'elissinga!" "Yee bwe kili!"

9

Amangu ago Omusotta ne guvayo negubuza nti, "Wakki mukaayana?"  Ko Nabbubi nti, "Mbade nkayana ne mukyala wange, omukyala agamba nti ettabi elyo likusinga obuwanvu, naye nze sikiliziganya naye." Omusotta ne gudamu nti, "Nze nsinga ettabi elyo, ndi muwanvu nnyo era ndi musotta munene ddala. Gwe sembeza ettabi okumppi nange olimpime ko!"

10

Nabbubi n'ekikola nga bw'emugamba nti, "Kankusibe ku ttabi lino nsobole okukupiima nga wegolode bulungi. Omusotta bwe b'agusiba gwona ku ttabi, Nabbubi nagwo n'egwambusa mu bire okugulaga Golola. Awo Nabbubi n'emugamba nti, "Nkoze kye wa ntuma okukola, kati olina okumpa engelo.

11

Awo Nabbubi n'emugamba nti, "Nkoze kye wa ntuma okukola, kati olina okumpa engelo."  Awo Katonda w'ebile n'akwasa Nabbubi sanduuko y'egelo. Nabbubi n'agyiretta ku nsi, najja ko akanyolo, bwe yabikula sanduko engelo n'eziyika nga zimala buli munttu okufuna. Abanttu bwe batandika okwegerela engelo, b'akizuula nga engelo zaali zigoberelagana nga nyingyi ny'okugya mu sanduko eyembaawo.  Engelo ziba z'akugelebwa so si kutelekebwa mu sanduuko.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Nabbubi Ew'abanttu Engelo
Author - Ghanaian folktale
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs