Waliwo omusajja atayagala nga kubeera kumpi n'abalirwana bbe. Eranga tayagala mukyala we kukyaala mu maka g'okumirirwano.
Olumu yagenda nazimba ennyumba ye mukibira nga eriwala nnyo, okuva ku nyumba z'abantu abalala.
Buli lunaku yagenda nga kumakya nakomawo ekiro ennyo mu maka gge.
Ekiro kimu, omusajja yalwawo okudda ewaka. Empisi yali eraba nga buli kimu omusajja oyo kye yalinga akola.
Empisi n'egenda n'ekonkona kuluggi lw'ennyumba.
Omukazi bweyalowooza nti omwami we yeyali akomyewo nagenda aggule w'oluggi. Empisi n'emubuukira n'emukwaata okukakana nga emulidde.
Omusajja olw'akomawo n'alaba nga mukyala we aliriddwa Empisi. Nasirika nga talina kya kwogera.
Bino byonna byaliwo kubanga omusajja ono teyayagala kubeera nga kumpi n'abamirirwano.