

Nakaayi nga akyali muwala muto, Maama we yamwebasanga ku mukeeka omulungi ennyo. Ssenga wa Nakaayi ye yali yaluka omukeeka guno ogwenjawulo okuva mu nsansa.
Omukeeka gono gwalimu langi ezenjawulo nga bululu, kiragara ne kakobe. Gwali mwawufu nnyo ku mikeeka gyona egyali mu nsisira ya Maama wa Nakaayi.
Obutonde bw'ettaka eryari lyetoolodde Nakaayi gyejabeeranga lyari kalu, nga lyokya era nga lijudde amayinja. Waliyo enjaba ez'obusagwa, nabbubi n'emisota mubuungi ddala. Naye Nakaayi teyaberanga nabulabe obw'okulumibwa ebitonde ebyo byona ebyobulabe.
Maama yamugamba nti omukeeka gwe guno ogwenjawulo; gw'ali gumukuuma eri obulabe bwonna.
Nakaayi yali mwana mugezi, era yazuula ewali oluzzi olwokumpi ate nga si luwanvu.
Era nayiga n'ensisira ya Jajja we omukyala weyali. Yagendangayo okunywa amata g'engamiya ne Jajja we.
Olumu Nakaayi teyali wa mukisa nnyo. Bwe yali agenda ewa Jjaja we teyatuuka. Yabulira mu nsozi. Era Nakaayi yatya nnyo.
Yatuula wansi w'omuti nga bw'alinda obuyambi. Oluvannyuma otulo twamutwala era nafuna ekirooto.
Ekirooto kyali bwekiti: Yali yebase ku mukeeka gwe guno ogwenjawulo. Omukyala eyali eyefananyiriza nga Jajja we omukyala yali amutunuulide ngabwamukuuma. Era omukyala ona yamwenya n'amuwa ebbakuli ennene nga erimu amata g'engamiya. Nakaayi bwegezaako okutwala amata gano, nasisimuka mukirooto.
Nakaayi n'azibula amasoge mpola mpola; era bweyatunula waggulu; n'alaba kanyonnyi akabululu nga kayimiridde ku tabi ly'omuti.
Nakaayi bweyasituka, akanyonnyi nekakuba ebiwawatiro byako ere nekabuuka nekatandika okumulaga ekkubo. Nakaayi naye nakagoberera.
Nakaayi bwe yatuuka mukifo nga ekubo ly'awukana mu njuyi biri; akanyonnyi kasuula akatundu k'omukeeka akaali ekefananyiriza omukeeka gwe.
Bweyakutama okugyawo omukeeka; Nakaayi yalaba ebigere ebyasigala mu kubo era bwatyo nakimanya nti byali bya Maama we. Mubwangu ddala, yalaba oluzzi omutono webaakimanga amazzi.
Abenŋanda za Nakaayi bayimba ne bazina nga bamwaniriza ewaka. Era basala embuzi, n'ebokya ennyama ne bajaguza olw'okudda kw'omwana wabwe obulungi.
Nakaayi yatuula ku mukeeka gwe ogwenjawulo nawoomerwa ekifi ekinene kye nnyama enjokye.

