

Edda ennyo waaliwo omusajja eyalina mukazi we ng'amwagala nnyo. Olumu omusajja ono yagenda mu kibira. Bwe yali agenda n'asisinkana omuwala omuwanvu, omutonotono era nga mulungi nnyo. Omusajja olw'alaba omuwala oyo n'amwagalirawo era era n'omuwala n'amukkiriza amangu ago. Wabula omuwala n'agamba omusajja oyo nti yalina ebbeere limu lyokka.
Omukazi yamugamba agende ewaka asaleko mukazi we erimu alimuleetere. Nti olwo omukazi abeere n'amabeere abiri balyoke bafumbiriganwe. Amangu ago omusajja n'adduka okudda ewaka n'akwata akambe n'abuukira mukazi we bamib era okutemya n'okuzibula ng'ebbeere liri ku ttaka.
N'ayanguwa okudda mu kibira we yalese kabiite we omupya. Wabula omukazi teyaliiwo we yamuleka. N'amukoowoola nnyo nga bw'ayita erinnya lye naye nga tawulirayo kanyego konna. Aba ali awo, n'awulira eddoboozi erigamba nti, "Lwaki okoowoola? Tokimanyi nti oli mu kibira mu kifo ky'Omusambwa ogw'ebbeere erimu?"
Omusajja bwe yawulira ebyo n'afubutuka ng'essasi okudda ewaka. Wabula agenda okutuukayo nga mukazi we yaakakutuka. Yawulira okunyolwa kwa maanyi olw'ekyo kye yali akoze era naye n'afa.

