

Mpeera yabeeranga ku kyalo Mbuya. Olunaku lumu yagenda ne mwanyina, Katende okukima amazzi. Samali aba asena amazzi, Lumu n'alaba akamyu. Yadduka n'akagoba. Yadduka emisinde miyitirivu naye ng'akamyu kadduka nnyo okumusinga.
Ensuwa ya Mpeera bwe yajjula n'ayagala okudda ewaka, naye nga muto we tamulaba. Yamagamaga naye nga Katende tamulaba. Mpeera yatambula nnyo nga bw'amunoonya era oluvanyuma yamuzuula ng'agalamidde mu bisagazi emabega w'ekiswa.
Bwe yamusemberera, Katende n'amukwata ku mumwa. Okumpi awo ne we yali waaliwo abasajja be batamanyi nga bawummudde. Abasajja baaalina obusaale n'amafumu. Katende n'agamba Mpeera mu kaama nti, "Abasajja abo banyazi ba nte, bazze kubba nte zaafe n'okwoca ekyalo kyaffe. Jangu tugende, tulina okudduka tugende tulabule bannaffe." Kale nno amangu ago Mpeera ne Katende badduka nga boolekera ekyalo kyabwe.
Baba banaatera okutuuka ku kyalo kyabwe ne basanga kojjaabwe. Yali atwala nte ze kuntwa mazzi. Kye baava baleekaana nga bagamba kojjaabwe nti, "Kojja dduka, dduka, abasajja baabo bajja okubba ente zaffe n'okwokya ekyalo kyaffe." Omusajja ky'ava alagira ente ye n'eddoboozi ery'omwanguka ng'agiragira okudduka egende mu kyalo kyabwe.
Baba bakyali walako, Katende n'alaba ssenga we ng'alima era naye n'amuyita ng'amugamba nti, "Dduka, dduka, abasajja baabo bajja okubba ente zaffe n'okwokya ekalo kyaffe." Omukazi yabaka enkumbi ye, n'akwata omwana eyali yeebase era n'adduka ng'ayolekera ekyalo kyabwe.
Bwe beeyongerayo era Katende n'alaba jjajja we. Yali atambula mpola mpola ng'agoba endogoyi eyali etwala ebirime. Era bwe yamulaba n'amugamba nti, "Jjajja, dduka, dduka, abasajja baabo bajja okubba ente zaffe n'okwakya ekyalo kyaffe." Jjajja we yabaka akati ki era n'agoba endogoyi ng'agyolekeza ekyalo kyabwe.
Mpeera ne mwannyina bwe baatuuka mu kyalo kyabwe ne bayita buli muntu nti, "Mudduke, mudduke, abasajja baabo bajja okubba ente zaffe n'okwokya ekyalo kyaffe." Banakyalo ne batya nnyo naye nga tebamanyi ky'akukola. Nga banaakweka wa ente zaabwe? Nga banaakweka wa ebirime byabwe? Ye nga bo baneekweka wa?
Mpeera yatya nnyo naye ate n'ajjukira ekifo ye ne mwannyina Katende we baagendanga okuzannya. Nga kifo kyekusifu ate nga si kyangu kufunirayo bulabe.
Ggwe olowooza otya? Mpeera ye yalokola abantu b'e Mubya oba muti?

