Jjaja Omukyala Eyali Ow’Ekisa Eri Omuwala Awunya
Southern African Folktale
Catherine Groenewald

Namuli yali muwala mulungi ennyo era nga alina jjaja we omukyala eyali owekisa ekingi ennyo.

1

Jjaja we yamala ekiseera kiwanvu nga aluka akakooyi akalungi ennyo era nakawa Namuli. Namuli yayagala nga nnyo okwambala akakooyo ke kano.

2

Abawala abalala kukyalo ky'abwe nebafuna obugya olw'akakooyi akalungi ennyo Namuli keyayambala nga. Yadde nga nabo balina obukooyi, naye akakooyi ka Namuli wama kaali kalungi okusingawo, era nga kanyirila nnyo okusinga bwonna abawala abalala bwe bayambala nga. Bwe bakalaba nga bawulira nga bubi era ne bayiya engeri y'okukamujjako, naye nga kizibu nnyo okwambula omuntu olugoye ng'alwambadde.

3

Olunaku olumu ku makya, abawala bayita Namuli abegatteko okuwugira mugga ogwali okumpi. Awo bwe battuuka ku lubalama lw'omugga, abawala abalala ne bagamba nti beyambuleko obukooyi bwabwe bwonna, olw'okutya nti bwandiyononeka singa bubisiwala. Bonna nebakanya ne Namuli nebeyambula.   Nga bonna bali bwerere, babuuka ne bagwa mu mugga, nga bwebasamula amazzi okumala akaseera.

4

Omusota omunene bwe gw'awulira Namuli nga akaaba ne guvayo okujja okulaba ekyali kigenda mu maaso. Awo bwe gwalaba Namuli omuwala omulungi nga akaaba ne gwasama, n'egumulira wamu n'akakooyi ke.

5

Omusota omunene bwe gw'awulira Namuli nga akaaba ne guvayo okujja okulaba ekyali kigenda mu maaso. Awo bwe gwalaba Namuli omuwala omulungi nga akaaba ne gwasama, n'egumulira wamu n'akakooyi ke.

6

Eky'ewunyisa amangu ago omusota ne gusesema Namuli wamu n'akakooyi kubanga tegwawomerwa kakooyi wamu ne Namuli mukamwa k'aayo. Omusota nga gumaze okusesema Namuli wamu nakakooyi ke, Namuli yali ajjudde amalusu gagwo saako n'akakooyi ate nga amalusu gano gaali gawunya nnyo.

7

Namuli bwe yadda engulu, nayambala akakooyi ke mubwangu era nadduka okudda ewaabwe mu bazzadde be nga bwayimba.

8

Maama nzigulirawo oluggi, mpunya. Maama nzigulirawo oluggi mpunya. Mpunya, bubi nnyo.   Maama wa Namuli bwe yawulira oluyimba, najja nga adduka obutamuganya kuyingira mu nnyumba era nga bw'amuyimbira nti;   Genda eli owunya Genda eli owunya Genda eli owunya Owunya bubi nnyo.

9

Namuli nawulira bubi nnyo olwa Maama we okumugoba ewaka. Awo nadduka nagenda mu nyumba ya Senga ne Kojja we. Namuli yajja nga bwayimba.

10

Senga nzigulirawo oluggi, mpunya. Kojja nzigulirawo oluggi mpunya. Mpunya, bubi nnyo.   Bwe bawulira akayimba nga bwa asembera, nabo nebakola kyekimu nga Maama we bwe yali akoze, ne batamuganya kuyingira mu nnyumba era nga bw'ebamuyimbira nti;   Genda eli owunya Genda eli owunya Genda eli owunya Owunya bubi nnyo.

11

Olwo no, Namuli yali asigaza Jjaja we omukyala yekka nga gyayinza okuddukira. Bweyali agenda mu nnanku ennyingi ennyo yanyorwa nnyo kubanga yaloowoza nti tewali muntu yenna eyali amwetaaga olw'okuba yali awunya nnyo ekivundu.

12

Naye Namuli yali mukyamu okulowooza bwatyo! Bweyatuuka mu nnyumba ya Jjaja we omukyala teyamugoba naye yamuyingiza munda na munaaza, era nayoza nakakooyi ke. Awo ekivundu nekigwawo, era N'amusiiga akawowo akawunya obulungi ennyo.

13

Namuli nasigala ne Jjaja we era nga wayiseewo emyaaka, omwana wa nagaga eyali akulira ekyalo yamusaba okumuwasa.

14

Abazadde be bwe bakimanya, ne bamusaba akomewo mu nnyumba yabwe abeere eyo.

15

Naye Namuli bwe yajjukira engeri gye bamuyisamu, bwe yali awunya ekivundu, nabagamba nti tasobola kudda mu nnyumba yabwe yadde nga bali bakadde be.   "Abazadde balina okwagala abaana baabwe" bwe yabadamu "Yadde nga abaana baabwe bawunya ekivundu ekibi ennyo."

16

Embaga bwe yaggwa, Namuli nayita jjaja we omukyala ajje abeere naye mu nnyumba ya nagaga ono, eyali omukulu w'ekyalo.

17

Jjaja omukyala yasanyuka nnyo olw'ekyo kye bamukoledde, era nawulira emirembe eyo era nabeera wa kitiibwa nnyo.

18
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Jjaja Omukyala Eyali Ow’Ekisa Eri Omuwala Awunya
Author - Southern African Folktale
Translation - Joseph M. Katabaro
Illustration - Catherine Groenewald
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs