Zama Wamaanyi!
Michael Oguttu
Vusi Malindi

Muto wange omulenzi yebaka kikerezi.

Nzukuka mangu, kubanga ndi wamaanyi.

1

Nze agulawo akasana kasobole okuyingira.

2

"Oli munyenye yange eyókumakya," Maama nagamba

3

Naaba buli lunaku, setaaga buyambi bwonna.

4

Sifaayo amazzi nebwegaba ganyogoga, oba sabuuni owa bululu gwebakozesa okwooza engoye.

5

Maama anzijukiza, "Tewelabira amanyo go,"

Nemuddamu, "Tekisoboka, sinze!"

6

Ngamaliriza okunaaba, Mbuuza Jjajja musajja ne ssenga.

Mbagaliza olunaku olulungi.

7

Awo neneyambaza engoye zange

"Ndimukulu kati maama,"Nemugamba

8

Nsobola okusiba amapeesa gange nokusiba engatto.

9

Nfuba okulaba nti muto wange omulenzi amanyi amawulire gonna agafa ku ssomero.

10

Mu kibiina kyange nkola buli ekisoboka mu buli ngeri.

11

Nkola ebintu bino byonna ebirungi buli lunaku.

Naye ekintu kyensinga okwagala, kwekuzanya nókuzanya!

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Zama Wamaanyi!
Author - Michael Oguttu
Translation - Jean Jovia Kigobe
Illustration - Vusi Malindi
Language - Luganda
Level - First sentences