

Emyaka gyayitawo mingi, ng'akasozi Nakigalala kalabikira ddala bulungi e Busiro mu bitundu ebyakula nga byamuseetwe.
Akasozi kano kaaliko empuku bbiri ku njuyi zaako era nga mpuku ezo mwalimu ensulo za mirundi ebiri ezaakulukutanga ne zisisinkanira mu kikko ne gikola omugga Galala.
Omugga Galala gwakulukutanga nga okwetooloola emiseetwe gy'omu Busiro gyonna. Amazzi gano gakozesebwa nga nnyo endiga n'embuzi eby'omu kitundu wamu n'empewo eyabeeranga mu bitundu ebyo.
Ebintu byali bitambula bulungi ku kyalo kino okutuusa Omwami Kapongo bwe yakwasibwa obuvunaanyizibwa. Yalagira abantu bakole ekubo okuva ku lusozi luno waggulu okutuuka mu kikko.
Ekkubo eryo yalyagala limwanguyize okulinnya ku lusozi waggulu ate n'okuwalabukirako ng'akka (ng'alinga akuba ggogolo).
Akasozi kano Kanakigalala kanyiiga nnyo olw'okukatusaako obulabe obwo naye ne kaba kagumiikiriza.
Ku buli nkomerero ya wiiki, abaana ba Kapongo n'emikwano gyabwe, baayambukanga waggulu ku kasozi kano okuzannya.
Baddukanga okulwetooloola olusozi lwonna ng'eno bwe bamenya ebikoola by'emiti gyonna, ba bwe bakuma omuliro (empiira) nga bazannya.
Wabula omuliro ogwo bwe baabanga baddayo nga baleka gwaka.
Ebbanga bwe lyayitawo, akasozi Nakigalala ne keetamwa. Empuku ezaali ennene zaatandika okutoniwa olw'okuzisattirira, era olusozi olwali olulungi, ne lutandika okujjako ebikkokko ebitaaliko era nga terukyanyuma.
Okugenda okukkakkana ng'ensulo zonna zikalidde. Empeewo nayo yasenguka kubanga mu kitundu ekyo mwali temukyali muddo gwakiragala muwanvu mw'eyinza kuzannyira.
Endiga n'embuzi zonna zaatandika okukoggooka. Era buli muntu yalaba ng'akasozi ako bambi kanakuwadde nnyo.
Awo abantu b'oku kyalo ne balaba nti bateekwa okubaako ne kye bakola. Amangu ago ne bakkaanya era omukulu w'ekyalo Kapongo ne bamuggya ku bukulembeze. Mu kifo kye ne balonderamu Kityo okubakulembera.
Amangu ago Kityo n'alagira buli muntu okusimba ekimuli olw'okussa ekitiiba mu kasozi ako Nakigalala. Kityo awamu n'abantu be bakolanga emikolo egy'enjawulo era ne baleeteranga nakigalala ebirabo by'emiti omuli emiti egy'enjawulo nga emisizi, emivule ne kalitunsi okugisimba.
Teri yaddamu kutambulira ku lusozi olwo era ebisubi ssaako n'emiti ne biddamu okumeruka n'okukula obulungi.
Mpola mpola, endabika y'akasozi Nakigalala yakomawo, empuku zaakomawo bulungi era n'ensulo ne ziddamu buto okukulukusa amazzi. Omugga Galala ggwaddamu okukulukusa amazzi okubuna ekyalo kyona.
Ekitundu ekyo kyaddamu nate okutojjeza kiragala atalabikangako. Empewo nayo yakomawo ne yeebuukirako mu muddo ogwo omulungi.
Abantu b'oku kyalo ne batandika okuyimba nti, "Owangaale Kityo, owangaale Kityo!"
Ate Kityo n'abantu be ne bakyukira akasozi nti, "Owangaale Nakigalala, owangaale Nakigalala. Abaana n'abazzukulu bakussengamu ekitiibwa, emirembe n'emirembe."

