Abantu B'ewaka
Clare Verbeek
Kathy Arbuckle

Muganda wange asoma akatabo k'essomero.

1

Maama asoma Bayibuli.

2

Mwannyinaze asoma akatabo akalagirira okufumba.

3

Kojja asoma olupapula lw'amawulire.

4

Jjajja asoma magaziini.

5

Muto wange asoma akatabo k'ebifaananyi.

6

Nze kano akatabo ke nsoma.

7

Mu bbanga ttono nja kuba nsobola okusoma buli kintu kyonna.

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Abantu B'ewaka
Author - Clare Verbeek, Thembani Dladla, Zanele Buthelezi
Translation - Mwesigwa Joshua Waswa
Illustration - Kathy Arbuckle
Language - Luganda
Level - First words