

Mba ntambulatambula ku kyalo Bweya ne nsanga eŋŋaaŋa ennene.
Bwe nagikuba bwe nti ne butida, n'reekaana nti, "ŋaa, ŋaa, ŋaa!"
Eŋŋaaŋa, yabuuka mu bbanga. Wabula nange ne ngigoberera nga mpita mu bisubi.
Okutuuka bwe yagwa ku muti omukalu. Ne nziramu n'engikuba. Ku mulundi guno n'egwa wansi ku ttaka.
Ne ngirondawo!
Ne ngitwalira Ssegaanya, eyalyanga buli kye yasanganga. (Olumu namuwa ne kalooli.) Yasanyuka nnyo nga mmuwadde eŋŋaaŋa.
Omutwe gw'eŋaaŋaa gwali munene nnyo nga gukaluba okukirako ejjambiya oba ekiso.
Ekinyonyi ekyo ky'ali kisava nnyo, nga n'amasavu g'akyo gakirako ku g'endiga. Ggwe wamma nga kisikiriza okulya!
Si kyangu kukwasa ŋŋaaŋa nga teweeteeseteese. Ekiro eŋŋaaŋa ziwummulira ku matabi g'emiti amakalu. Omuntu wa ddembe okulya ye ky'ayagala. Ky'ova olaba nga Ssegaanya alya eŋŋaaŋa.

