

Mu kyaalo ku lubalama lwe'nyanja, wa'beerayo omuwala omuto.
Erinnya lye lya'li Atieno.
Taata wa Atieno yali muvubi mwaatiikirivu. Yalina eryaato lyavubisa nga lilye.
Atieno yanyumirwa okuvuba ne taata we.
Atieno yali ayagala okulaba abalenzi nga bazannya omupiira.
"Kanzanye namwe," yabasaba olunaku lumu. Abalenzi bamusekerera, "Genda ozanye jangu onkwekule naabawala."
Abawala baagamba Atieno, "Amagulu go mawanvu nnyo." Atieno yali munakuwavu.
Yakizuula nti omusana gwandiba mukwano gwe. Kati olwo buli kumakya, Atieno yaziniranga omusana.
Olunaku lumu, omusana tegwayaka. Ssegwanga tezakokolima, ebinyonyi tebyayimba naabaana tebagenda ku ssomero. Ne taata we teyagenda kuvuba.
Atieno yali munakuwavu. "Mukwano gwange aliwa, Omusana? Lwaki musirifu nnyo leero?"
Atieno yagenda eri abaana abalala abagambe ku ngeri gye yali omunakuwavu. Naye baamusekerera, "Mpozi mukwano gwo omusana, afudde. Oba yakuduseeko."
Atieno yagamba, "Omusana mukwano gwange. Tegusobola kufa."
Atieno yali munakuwavu nnyo kwe kudduka ku nnyumba. Yasamba nnyo omupiira gwa muganda we.
Atieno yalowooza, "Njakuzanya omupiira guno paka mukwano gwange, omusana waanadda."
Yasitula omupiira na'dduka nagwo ebweru.
Atieno bwe yatuuka ebweru, yateeka omupiira ku ttaka. Yalowooza, "Nsobola okuzannya nga bbo."
Yasamba nnyo omupiira. Gwagendera ddala waggulu mu bire bya kikome.
Nga buli omu yali atunudde waggulu, omupiira gwabuulira mu bire ebikwafu.
Waaliwo akasasirikiriro.
Amangu ago, ebire ebikwafu bya'vaawo omusana ne gujja. Obulamu bw'adda ku lubalama lwe'nnyanja lwe'kyaalo nate.
Buli omu yeetegeka okukola kye baalinga bakola.
Atieno yali tasobola kukikiriza nti yali akomezawo omusana ku kyaalo. Naye ekyasingayo, omusana gwali gukomyewo mu bulamu bwe.
Yagamba abaana, "Mukwano gwange, omusana gukomyeewo!"

