Wakappa ne Wambwa bakuba ne langi
Elke and René Leisink
Elke and René Leisink

Ono Wakkapa.

Ono Wambwa.

1

Wakappa ne Wambwa baagala okuba ebifananyi n'okusiiga langi.

Wambwa yasooka.

Akute ekalamu n'olupapula lwa sukweya.

2

Wambwa akubye ekifananyi kya ovolo.

Ekifananyi kifaanana nga omubiri gwa Wakkapa.

Woowe nga kyangu!

3

Naamala naakubako obusonda bubiri ku ovolo nga gemattu ga Wakkapa.

Naakuba ne langi enzirugavu nga ye nyindo ya Wakkapa naatekako naakalayini wagulu we nyindo.

4

Kati ali mukuteekako maaso noobukowekowe.

Amaaso ga butonyeze bubiri.

Woowe ekyo nga kyangu!

5

Naamala naakuba omumwa gwa Wakkapa.

Omumwa gufaanana nga ennukuta 'wa' ne naakuba obuswiriri bwa Wakkapa.

Obusatu buli ku kono obusatu ku dyo.

6

Ekifaananyi kiri kumpi kugwa.

Wambwa yakuba emikono na magulu ga Wakkapa mu ngeri ya busaze.

Yakuba obugere nga bwetoolovu.

Naakuba n'omukira nga guli mu busaze.

7

Mukumaliriza ekifananyi yakisiiga langi eyakakyungwa naakimaliriza.

Woowe, ekifananyi kirungi!

8

Kati Wakkapa yaddako okuba.

Yakwata ekalamu n'olupapula nga lwansonda nnya.

9

Wakkapa naakuba ekifananyi kya ovolo nga gwe mubiri gwa Wambwa.

Waa, nga kirungi!

10

Wakkapa yakuba amattu abiri nga maddugavu.

Naakuba enyindo ya Wambwa nga nettolovu naagikubako naakasaze.

11

Yakuba amaaso nga gabutonyeze bubiri.

Naakuba nobukowekoowe nga buli mu busaze.

Era kyali kisuffu!

12

Awo naakuba omumwa gwa Wambwa nga guli mu busaze naagwetolooza obutonyeze, busatu busatu.

13

Nga ali kumpi kumaliriza.

Yakuba emikono na amagulu ga Wambwa mu busaze.

Awo naakuba n'obugere nga buli mu ngeri ya kwetolooza.

Naakuba n'omukira nga guli mu ngeri ya kimuli.

14

Nga amaliriza, yakuba ebyetooloovu ku mubiri gwe kifananyi kya Wambwa era naakisiiga langi ya kyenvu.

Awo ekikube kiwedde.

Eeehe kisufu!

15

Weeraba Wakkapa.

Weeraba kikube kya Wakkapa.

Weeraba Wambwa.

Weeraba kikube kya Wambwa

16

17
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wakappa ne Wambwa bakuba ne langi
Author - Elke and René Leisink
Translation - Kirabo Vicky NAMUSISI, NUWENYINE PATRICK SCOT
Illustration - Elke and René Leisink
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs