Omwana wa Kumbana
Ingrid Schechter
Razaque Lázaro Quive

Waliyo omuvubka omuto nga bamuyita Kumbana.

1

We yali nga ayinna emyaka abirimwetano, yagwa mu mukwano no muwala gwe bayita nga Zangane.

2

Bali bonna okumala emyaka essatu naye nga omussaja teyayina ssente zimala okuwasa omukyala.

3

Olunaku lummu omukyala yesanga nnya alina oluboto lwakuba teyakosa kapiira.

4

Awo akawala akato nekazalibwa ne bakatuma Kheri.

5

Naye Kumbana yali akyasoma nga ate Zangane yalina omulimu ewala mu kibuga kati ekyo nga kibaletela okubela nga beyawula.

6

Nga waise akabanga,Zangane yafuna omusajja omulala eyajja nga okusula naye ne kawala ke omuto.

7

Kumbana yamenyeka omutima, ela nakaba nnyo lwakuba yali ayawukanye ne muwala we.

8

Obudde bwetolola ela ne Kumbana nafuna omukazi omulala. Nebabela bona naye tebayina yo baana boona.

9

Kheri yali tayagala tata we omupya. Ela teyali musanyufu lwakuba yali amukuba.

10

Weyali ayina emyaka kuminebiri, mama we yasala wo amuzeyo abele ne tata we omutuffu.

11

Awo Kumbana ne Kheri bali basanyufu nela.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Omwana wa Kumbana
Author - Ingrid Schechter
Translation - MICHAEL KISEKKA
Illustration - Razaque Lázaro Quive
Language - Luganda
Level - First sentences