

Edda ennyo, waliyo omusajja gwe bali bayita Kato. Yali abeera mu kibuga Kabuusu. Yali abeera n'embwa ye mukayumba akatono.
Olunaku olumu Kato yalwala nnyo. Teyayina wakumuyamba. Bweyadda engulu, yasalawo awase omukyala eyali abeera okumpi awo.
Yayita abako n'emikwano okuberawo kumbaga. Kato yali musanyufu nyo kuba yali alowooza nti afunye omuyambi.
Ebintu bingi bya leetebwa omugole ne bba. Ebiselo byo bulo, emikeka, amenvu, ebinyebwa, n'ebilabo ebilala ebya maka.
Omukolo gwe embaga gwagwa ela abagenyi nebadda ewabwe. Kato ne yetegeka okutandika obulamu obupya wamu ne mukyala we n' embwa ye.
Olunaku olwaddako, Kato yawa mukyala we amenvu, naye n'agaana okugalya.
Kato lwe yagenda okuyiga, omukyala nalya amenvu gonna.
Kato yakomawo okuva okuyigga nga enjjala emuluma. yasaba amenvu. Mukyala we namugamba nti embwa yagalidde gonna.
Olunaku olwadilila, Kato yagenda mukisibo. Bwe yadda eka, yasanga mukyalawe nga alidde enyama. Yali tawaddeeko embwa yadde.
olunaku olulala, Kato yakyalila mukwano gwe ela weyadda, omukyala yali alidde ebinyebwa. Ekiselo kyali kikalu. Kato yanyiigira mukyala we omupya.
Kato nalowoza, "waliwo ekizibu ekili ku mukazi ono." yasalawo akozese eddogo. Ya teeka amaata mu nsuwa eyalimu eddogo, nagiteeka wansi wekitandda, nagenda okuyiga.
Omukazi yalaba ensuwa, eyali ejjudde amata. Yagikwata nagiteeka kumumwa omulundi gumu. Yanwa amata gonna nga embwa emutunulidde.
Ekyenaku, ensuwa yalemera ku mumwa. yagezaako okugijako nga biwalattaka. Yalekana, nabuukabuuka naye ensuwa yaganilako. Embwa yali ebilaba byoona.
Awo embwa n'egenda okuzuula Kato. Embwa yaboggola, ne'boggola, ne buukabuuka. Kato nakizula nti waliwo ekikyamu eka.
Badduka b'abiri okudda eka. Kato y'ewunnya okusanga ensuwa nga ekwatidde ku mumwa gwa mukyalawe.
Kato yakwata ku tama lya mukyalawe ensuwa negwa omulunddi gumu. Omukyala yaswala nyo. Yasalawo addeyo ekka eli bakaddebe.

