

Edda ennyo tewaali kiro ku kyalo Kajoba kw'abeera. Abantu bwe bakoowanga, nga beebaka ate bwe baazukukanga nga bakola emirimu gyabwe.
Lwali lumu, Kajoba n'agenda n'embwa ze okuyigga. Waba waakayitawo akaseera katono embwa ze ne zitandika okugoba engabi. Kajoba naye yagoberera embwa ze era n'addukira ebbanga eriwera. Buli lwe yawuliranga ng'akooye ng'awummulamu ate oluvannyuma n'addamu buto okudduka. Wabula, embwa ze zaamulema okusanga.
Ng'addukidde ennaku eziwera, waliwo ekyalo kye yatuukamu. Yatuukirira amaka agamu n'agamba nnyinimu nti, "Mmaze ebbanga nga ngoba engabi naye mpulira nga nkooye nnyo. Njagala kuwummulamu." Omusajja n'amugamba nti, "Tuula wansi owummule. Oyagala nkuwe ku mwenge onyweko?" Kajoba ennyonta yali emuluma nnyo era bw'atyo n'angwako ku mwenge. Bwe yamala n'agenda ne yeebaka.
Kajoba yagenda okuzuukuka nga tasobola kulaba. Yatemereza emirundi egiwera naye era nga talaba. Kye yava agamba omusajja nti, "Wampadde ekintu ek'okunywa ekibi, sikyasobola kulaba bulungi." Omusajja n'amuddamu nti, "Tolina buzibu bwonna, kati obudde bwa kiro. Tolabanga ku kiro? Obudde bw'emisana bwe bugenda, ekiro nga kijja."
Kajoba yabuuza ebibuuzo bingi ebikwata ku budde bw'ekiro. Yatandika okwagala ennyo ekiro. Ku olwo, ye ne mukwano gwe omupya baanyumya ne bakeesa okutuusa ku makya. Yasalawo abeere naye olunaku olulala asobole okulaba engeri ekiro gye kijja.
Enkeera yabuuza mukwano gwe nti, "Nnyinza ntya okutwala ekiro ku kyalo ky'ewaffe? Njagala n'abantu bange balabe ku kiro." Omusajja n'amuddamu nti, "Obudde bwe bunaatandika okuziba olwaleero, ng'otambula ng'oddayo ku kyalo kyo. Bw'onootambula n'otadda mabega, ekiro kijja kukugoberera. Naye toteekwa kutunula mabega. Bw'onootunula emabega, ekiro kijja kugenda."
Kajoba yakolera ddala ng'omusajja bwe yamugamba. Akawungeezi ako yatandika okutambula ng'ayolekera ekyalo kye. Yawuliranga ekiro nga kimuvaako emabega. Yayagala nnyo atunuleko emabega naye teyakikola.
Bwe yatuuka ku kyalo, abantu b'oku kyalo ne batya nnyo. Bamubuuza nti, "Kilwadde ki kino ky'otuleetedde? Ekintu ekyo ekiddugavu ekikuvaako emabega kiki? Kajoba n'abaddamu nti, "Mikwano gyange ekintu ekyo ekiddugavu ekingoberera kiyitibwa kiro! Nange nakitya nga mmwe bwe mukitidde.
Yayongera n'abagamba nti, "Oluvanyuma ekiro mujja kukyagala. Ekitangaala bwe kinajjanga nga tukola emirimu ate ekiro bwe kinajjanga nga tuwummula."
Bwentyo bwe nakulabira ekiro nga kijja ku kyalo kya Kajoba.

