Wazzike ne Waggoonya
Mulualem Daba
Abraham Muzee

Waggoonya yali ayota akasana ku lubalama lwe nyanja.

Wazzike bweyali ayita n'amubuuzako.

1

Wazzike yabuza Waggoonya gyabeera. Waggoonya naamuddamu nti, "Mu Nyanja."

Wazzike kyamwewunyisa kwe kumubuuza nti, "Obulamu bw'omumazzi buli butya? Bweyagaza?"

2

Waggoonya yamuddamu nti, "Bulungi. Ye gwe obeera wa?"

Wazzike yadamu nti, "Nze mbeera mu miti. Ndya bikoola na bibala. Gwe olya ki?"

3

Waggoonya naamuddamu nti, "Nze ndya nnyama." Wabula Waggoonya yali alowooza ngeri gyanaakwata Wazzike amulye. Kwe kumubuuza nti, "Omanyi okuwuga?"

4

Ko Wazzike nti, "Nedda simanyi kuwuga." Waggoonya naamugamba nti, "Kankuyigirize okuwuga."

Wazzike naamugamba nti, "Nedda sagala."

5

Waggoonya yalimba Wazzike nti, "Tufuuse ba mukwano. Jangu otuule ku mugongo gwange."

Wazzike yatuula, Waggoonya naatandiika okuwuga.

6

Bwebatuuka wakati mu nyanja, Waggoonya naabuuza Wazzike nti, "Owulira otya okubeera ku mazzi?"

Ko Wazzike nti, "Nyumirwa ndi musanyufu."

7

Waggoonya yagamba Wazzike nti, "Kojja wange mulwadde nyo naye tukyanoonya ddagala erinamuwonya."

8

Wazzike yatya nnyo n'okukankana nga bwanonya engeri y'okudduka ku Waggoonya.

9

Wazzike naafuna ekilowoozo. Yagamba Waggoonya, "Totya. Kojja wo nja muwa omutiima gwange. Ennyama ya Wazzike eja kumuwonya."

10

Waggoonya yasanyuka naamubuuza nti, "Ddala osobola okuwa kojja wange omutima gwo?" Ko Wazzike nti, "Ye. Tuli ba mukwano!"

11

Waayitawo akaseera katono, Wazzike naagamba Waggoonya nti, "Ononsonyiwa mukwano naye omutima gwange nagwerabidde mu muti. Tuddeyo ngunone."

12

Waggoonya naamubuuza nti, "Okakasa omutima onaaguleeta okuva ku muti?"

Ko Wazzike nti, "Yee nja guleeta. Ngenda kugenda nawe okulaba kojja wo."

13

Waggoonya yakiriza naadayo ku lukalu.

Olwatuuka ku lukalu, Waziike naabuuka okuva ku mugongo gwa Waggoonya.

14

Yasinziira ku muti nagamba Waggoonya nti, "Munange webale nnyo kunambuuza nyanja. Weraba!"

15

Waggoonya yayogeza busungu nti, "Wannimbye? Omutima oguleeta, oba nedda?"

Wazzike yaddamu nti, "Ssinga sibadde na mutima gwange ssandisobodde kutuula ku mugongo gwo."

16
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wazzike ne Waggoonya
Author - Mulualem Daba
Translation - Raymond Muwanguzi
Illustration - Abraham Muzee
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs