Wakibe ne Wankima
Mulualem Daba
Salim Kasamba

Olwatuuka nga wabaawo Wakibe ne Wankima.

Wakibe ne Wankima balina obutakanya wakati wabwew. Basalawo bagende eri omulamuzi abamale empaka.

1

oluvanyuma lyo' mulamuzi oku wuliliza empaka zabwe yatya okusala omusango gwabwe.

Era yefumintirizamu "bwe nasingisa Wakibe omusango, ajjakulya Ente zange zonna. ate omusango bwenagusingisa Wankima ajja kulya kasooli wange yenna., kati, nakoola ntya?

2

Omulamuzi yalowoza okumala akabanga era nagamba, "omusango mukalubo nyo nokuyinza siyinza kugusala nzekka. mulina kugenda eli abakulu be' kyalo."
Era Wankima ne Wakibe ne balinya muddenne paka wa bakulembeze be' kyalo.

3

Banyonyola ensonga zonna eri abakulembeze be'kyalo.
Oluvanyuma lwabakulembeze okuwulira omusango gwabwe, nabo batyamu okusala omusango guno.

4

Singa bawagira Wankima, Wakibe ajja kulya Ente zaabwe. Singa bawagira Wakibe, Wankima ajja kulya kasooli wabwe. Abakulembeze bano bategeza Wakibe ne Wankima nti omusango gwabwe gwali gubazitiweredde.

5

Amangudala Abakulembeze bano bajjukira Namukadde omwavu mukabuga.Teyalina kantukonna kakufirwa yade Ente oba Kasooli.

"Asobola okusala omusango awatali kutya kwonna," Abakulembeze bwebatyo bwe bekuba obwama. Era balagira Bawansolo bano ababiri okugenda eyo ewa nNamukadde.

6

Baatuka mumaka ga Namukadde era nebamusaba abasalire omusango era ne Namukadde nakkiriza.

Naye, yabasaba bogere naye kinoomu,omu kwomu.

7

Namukadde ono yasooka kuyita Wakibe namugamba nti, "ossibwamu ekitiibwa, oli nsolo nene era omuzira. Oyinza otya okukayana na' kasolo akatono nga ka Wankima?"

8

Namukadde ono omwavu yagamba Wakibe, "singa abantu bawulira kubutakanya bwamwe bajja kunyoma. Komya olutalo ne Wankima."

"Dala olimutufu" Wakibe bwe yaddamu. "kankomye omusango guno ebyokukayana kambiveko."

9

Oluvanyuma Namukadde ono yayita Wankima namugambanti, "Olimugezi era omubalagavu.lwaki okayana ne Wakibe omukyafu, awunya, era alya ebivunze? Abantu banalowoza batya bwebanawulira kuluyombo lwo no' gusolo ogubi obwenkanidde awo?"

Aluvanyuma lwakasera mpawo kaga Wankima yagamba, "Dala olimutuufu! nja kukomya olutalo luno."

10

Oluvanyuma lwebyo byonna,Namukadde yabayita bombi nabagamba, "mwembiriri musazewo okukomya omusango guno. olwe' nsonga eyo mulina okusonyiwagana."

11

Bawansolo bombi beetonda buli omu eri munne era ne nebamalawo obutakkanya.

Abantu bomukabuga ako bwebawulira ku lugero luno, bewunyanyo. Namukadde omwavu yagonjola ensonga ezalema omulamuzi na' bakulembeze.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wakibe ne Wankima
Author - Mulualem Daba
Translation - Anaya Ayinzabyonna Mbogo Junior
Illustration - Salim Kasamba
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs