Mulongo N'Empisi
Sarah Nangobi
Wiehan de Jager

Waaliwo omuwala eyayitibwa nga Mulongo. Era yabeeranga ne bazadde be, okumpi n'ekyalo Budongo.

Olumu Maama we yamutuma okugenda ku luzzi okukima amazzi.

1

Bwe yali agenda n'asanga mikwano gye abaali bagenda mu kibira okutyaba enku. Mulongo n'ayagala okugenda nabo.

Yagamba mikwano gye nti, "Munnindireko wansi w'omuvule njagala kusooka kutwalira maama mazzi."

Naye mikwano gye baali tebaagala kulinda.

2

Mulongo n'abagamba nti, "Kale mugende nja kubasanga mu kibira!"

N'adduka mangu ku luzzi n'asena amazzi n'agatwalira nnyina. Awo n'agenda mu kibira okunoonya mikwano gye.

3

Yakwata akakubo akaali kaggukira ku mugga. Emitala w'omugga waaliyo obukubo bungi nga bugenda mu bifo bya njawulo.

Mulongo yasoberwa ne yeebuuza nti, "Mikwano gyange gyakutte kkubo ki?"

4

N'asalawo okukwata akakubo akaali kasingako obunene, n'atambula, n'atambula, naye teyasobola kusanga mikwano gye.

Mulongo yakoowa nnyo era bwe yatuulako wansi w'omuti awumuleko otulo ne tumutwala.

5

Mulongo bwe yazuukuka, obudde bwali buzibye. Mu nzikiza eyo, yalaba amasso aga kyenvu nga gakaayakana. Bw'atyo nno yali yeetooloddwa bawampisi!

Yatya nnyo n'atasobola na kukuba nduulu. Yagezaako okudduka naye bawampisi ne bamuzingiza nga baagala n'okumulya.

6

Wampisi eyalina eddoboozi eddene enyo kye yava amugamba nti, "Teweenyeenya! Bw'onodukka tujja kukulya!"

Mulongo ne yeegayirira bawampisi ng'amba nti, "Bambi mundeke nzireyo eka."

7

Naye empisi ne zimutwala mu nju yaazo eyo munda mu kibira. Akasiisira kaali kacaafu nnyo nga kajjudde amagumba ne nsowera.

Mulongo n'agalamira wansi ne yeefula eyeebase.

8

Mulongo yawulira bawampis nga boogera mu nzikiza nti, "Omuliro guli gutya? Amazzi geeseze?" Wampisi omulala n'addamu nti.

"Buli kimu kiri bulungi. Mmuleete?" Empisi Endala ne ziddamu nti, "Yee, muleete enjala etuluma!"

Bawampisi baali beetegese okusika Mulongo mu kasiisira mwe yali.

9

Baali banaatera okufulumya Mulongo wabweru, Wampisi omukulu n'agamba nti, "Abange, mulindeko. Mujjukire etteeka ly'oku kyalo kyaffe. Teri wampisa akkirizibwa kulya yekka. Tulina okuyita bannaffe bonna ne tuliira wamu. Ko mukazi we nti, Ka ηηende mpite abako."

Wampisi omuto naye n'agamba nti, "Nze ka mpite bakizibwe baffe." Wampisi omulala naye kwe kugamba nti, "Nze ka mpite bannyinaffe ne baganda baffe abalala." Ko Wampisi omukulu nti, "Nze ka nsigale wano nkuume emmere yaffe."

10

Wampisi omukulu yatuula mu mulyango gw'akasiisira ate bawampisi abalala buli omu n'agenda gage, Bawampisi baalwawo okudda, Wampsi omukulu n'atandika okusumagira olw'akabugumu akaali k'omuliro. Teyalwa n'atandika okufuluuta.

Kano ke kaali akakisa ka Mulongo! Naye yali agenda kuyita atya ku wampisi awo mu mulyango? Wampisi yali munene nnyo nga omulyango gwona agumalayo.

11

Waaliwo engeri emu yokka gye yali alina okukozesa.

Yakuba oluta oluwanvu ennyo n'abuuka omugongo gwa Wampisi era bw'atyo n'adukka nnyo, nnyo nga bwe yali asobola.

12

Amangu ago ne bawampisi abalal ne bakomawo ne balaba ekyali kibaddewo.

Baatandika okumugoba nga bwe bawuuna mu bukambwe n'obusungu obuzibu. Wabula, baali tebakyalina kye bataasa!

13

Bwe yali anaatera okutuuka ku kyalo kye, omu ku bantu b'oku kyalo yamulaba n'amutegeera era n'aleekaana nti, "Mulongo, Mulongo wuuyo, Mulongo wuuyo ajja."

Kitaawe ne nnyina badduka okugenda gy'ali. Baamugwa mu kifuba nga bwe beebaza Katonda olw'okuwonya obulamu bw'omwana waabwe. Bamugwa mu kifuba nga bwe bagamba nti, "Mulongo, Mulongo twabadde tulowooza nti wa fudde!"

14

Okuva olwo, Mulongo n'abaana abalala tewali yaddamu kugenda mu kibira yekka.

15
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Mulongo N'Empisi
Author - Sarah Nangobi
Translation - Mwesigwa Joshua Waswa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Read aloud