

mbalamusiza, nze Ntombi. ndi muwala muto nga bawala abalala okujako nina gonya. tosobola kugilaba naye nkimanyi mweli.
tejja kuva mumubiri gwange kuyingila gugwo newo tula nange, oba ogunkwatta ku mukono.
tejja kuva mumubiri gwange kugenda mugugwo newo gabana nange ekyemisana oba okugalamila nange wansi nga towumula
ggonya yange, omusenze omuzigu, mbadde naye kuva lwenazalibwa nayo. eyagala nyo okulya buli mujjasi mumubiri gwange alwanisa obuuuka okuziyiza nze okulwala. bwalya abajasi bange abanji andetela okulwala. Bwalya abajasi bange abangi andetela, okulwala. nemba nga sisobola kugenda kussomero naku zanya namikwano gyange.
nina okumila eddagala lyange bulilunnaku ku sawa yemu. awatali ekyo ggonya yange ezukuka mumbela embi nalya abajjasi bange nela. Sagala akole ekyo, yensonga lwaki ngamba Gogo okumpa edagala lyange elyenjaulo kukasela akatufu.
Bwendya emmere nga enva edilwa ne bibala, abajjasi bange mumubiri gwange bafuna amanyi nebatakiliza ggonya yange kubakwata. Ndowooza agenda neyebaka okumala akasela, lwakuba mba namanyi nensobola okuzanya nemikwano gyange nela. ndimusanufu bwaba agenze okwebaka nensobola okwbaka
Gogo wange yantwala muddwaliro akasela akayise nafunila ekyenjawulo ekyokulisa ggonya yange. kimuletera okwebaka natalya bajjasi bange. nensobobola okukola byona ebisanyusa nga abaana abalala, nga okudukka, okuwalampa nokuzzina.
njagala nyo Gogo wange. mulungi ate wakisa jyendi. ampa emmere nedya nandalaba nti ebyetagisa okusobola okukuma abajjasi bange nga bamani, nesisobola kulwala. bwemba ndwadde antwala mudwaliro amangu ago, nesobola okufuna edagala okusobola okubela obulungi. njagala nyo bwa'ateka kubisambi bye nansomera obugero ngasinebaka.
Gogo bwaba amaliliza okunteka mumbulili, ndowoza nyo ebintu bingi. ndowoza okuyiga okusoma mu ssomero elinene. bwemba neyongedde okunywa edagala lwange elyenjawulo eliletela gonya yange okwebaka, njasobola okulabilila Gogo wange musomere obugero nga akadiye nga tasobola kulaba bulungi. Bwemba mukyala akuze, njakwagala okusoma. Njagala kusobola okufuna edagala elisobola okwebasa gonya zonna mumibiri gya bantu lubelela.
njakuyiga okubela ne gonya yange nsobole okumwebasa nga bwensobola. njakusobola okufuna emikwano mingi nga bwensobola nsobole okufuna essanyu lyona nga bwesobola bulilunaku.
Gogo wange, ba senga bange, bakoja ne mikwano banjagala, nebwemba nina gonya eyitibwa omusenze namuzisa.

