Omusajja eyameera ebiwawatiro
Worku Debele
Tadesse Teshome

Olwa tuka, wabelangawo omussajja omuggaga, yalina abaana abalenzi babbiri.

Ono omugagga yawandiika mu ddaame lye mbu omwana we asooka ayina okutwala ente ze zona.

Ne mutabaniwe asembayo yeeka ayina otwala ezimu ku mpanga ze.

1

Nolwekyo, olwamala omusajja nafaa, omwana we asooka yatwala ente zona.

Nomwana we owokubiri natwala empanga ezamuwebwa.

2

Oluvanyuma lwe saawa, omutabani omuggaga yalwalaa nyoo.

Na genda awo musaawo owekinansi okubuza kii kyalina okola okuwona.

Omusawo yamudamu ntii, "Oyiina ogula empanga eya langi eyenjawulo."

3

Omutabani omugagga yali tamanyi wagenda okuffuna empanga eyenjawulo.

Awo yajjukila enkoko ya mutabani wee.

Yatumizza abantu ewaa mugandawe.

4

Mugandawe yabadamu, "Kyona kyenina yeeno empanga, naye wekiba nga kyekinawonya muganda wange, wakili nfiirwa eno enkoko."

Olwo mutiima omugabi nabawa empanga.

5

Abantu baagisala neba jjiwa omulwade.

Olwamala mugandawe yawona okuva kubulwade bweyalina.

6

Oluvanyuma lwe saawa, ekyali kyewunyisa kyatukawo.

Omubiri gwo mugagga gwatandika okumela ebyoya.

7

Amaaso ge galitegakyikiliza.

8

Weyagenda ewaabakulu, bamugamba nti, "Kyekino ekiivamu wooba toli mwenkanya ewa mugandawo. Otutte ente zoona, ne mpanga ya kitamwe jyeyamulekela."

Abakulu bo mukyalo ngabagamba mutabani omuggaga, "Okuwoona, mugandawo ayiina okusonyiwa."

9

Abakulu bo mukyalo bagenda mumaso ngabagamba nti, "Tujja twala eno nekilesi nga akaboneero ko kusonyiwagana no kujyiwa mwanyinawe. Wajyiwandulako amalusu, ojja kuba owonye."

10

Abaakulu batwala akakomo ewa mugandawe nebamugamba nti, "Kawanduleko awo osonyiwe mugandawo."

Olwamala wandulako.

11

Oluvanyuma abakulu basalawo okuwa mugandawe omwavu kitundu ku ente zeyali yatwala.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Omusajja eyameera ebiwawatiro
Author - Worku Debele, Elizabeth Laird
Translation - Nalubega Elizabeth Doreen
Illustration - Tadesse Teshome
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs