Anansi Ne Wanfudu
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Lwali lumu, Anansi n'asima amayuuni mu nnimiro ye. Gaali malungi nnyo, era nga mawoomu.

Yagafumba bulungi nnyo era n'atuula wansi okugalya.

1

Anansi aba agenda okuteka bw'ati ekitole ekisooka mu kamwa, n'awulira akonkona ku luggi. Ky'ava muli yeebuuza nti, "Anaaba ani oyo?" Naye era yagenda n'aggulawo oluggi.

Okutuuka ku mulyango nga Wanfudu y'aliwo era ng'alabika ekooye nnyo. Wanfudu n'agamba Anansi nti, "Nkusaba onzikirize nnyingire. Ntambudde nnyo olwaleero era ndi mukoowu ate n'enjala ennuma."

Anansi teyalina kyakukola okuggyako okumuleka n'ayingira.

2

Anansi yakodowalira amayuuni ge agaali amawoomu ennyo era nga tayagala kugabirako muntu yenna. Bw'atyo nno yafumba omutwe n'asala amagezi agataali malungi.

Wanfudu aba yakatuula bw'ati ku ntebe ng'agenda okutoolawo ejjuuni alye, Anansi n'amuboggolera ng'agamba nti, "Wanfudeu, engalo zo ziddugala nnyo, tosobola ku kwata ku byakulya na ngalo ezo. Genda onaabe engalo."

Engalo za Wanfude zaali ziddugala nnyo. Yayavula mpola mpola n'agenda ku mugga okunaba engalo era bwe yamala n'akomawo.

3

Wanfudu we yagendera okunaaba engalo, Anansi ye n'atandika okuvuubiika amayuuni gonna. Wanfudu agenda okuddda atunuleko mu ssowaani nga tekuli jjuuni na limu.

Wanfude yatunuulira Nabbubi n'mugamba nti, "Weebale nnyo okumpita ku ky'eggulo, era olulala bw'oberanga okumpi n'ewange ojjanga nange ne nkukolera nga bw'onkoledde."

Wanfude bw'atyo n'ayavula ng'addayo ewuwe.

4

Ekiseera bwe kyayitawo, Anansi n'ajjukira nti Wanfudu yamusuubiza eky'eggulo eky'obwereere. Olwali olwo Anansi nga yeesitula kugenda wa Wanfudu.

Anansi we yatuukira ewa Wanfudu ng'akaseera wasigadde katono ekyeggulo kituuke. Mu kiseera ekyo n'enjuba yali egenda kugwa. Wanfudu yali awo ng'ayota ku musana era nga bawanfudu abalala bwe bakola.

Wandu bwe yalaba Anansi n'amwaniriza bulungi era n'amubuuza nti, "Anansi, oli otya eyo? Ozze tulye ffenna ekyeggulo?"

Ko Anansi nti, "Ye munnange, kinaaba kirungi okulira awamu naawe." Bwe yawulira ebyo ate enjala ne yeeyongera okumuluma.

5

Awo Wanfude ne yebbika wansi mu mugga asobole okutegeka obulungi bye bagenda okulya. Anansi ye yabeera awo ku lwazi ng'alinze.

Ekiseera tekyalwa, Wanfudu n'awuga n'akomawo ku lukalu n'agamba Anansi nti, "Anansi, ekyeggulo mmaze okukitegeka, jangu tuliye."

Bwe yamala okumuyita ate olwo ye ne yebbika mu mazzi n'atandika okulya omuddo gwe yali ategese ng'ekyeggulo.

6

Anansi yagezaako okwebbika mu mazzi kyokka nga etengenja butengezzi ku kungulu kubanga teyali Wanfudu nti asobola okwebbika okwebika mu mazzi. Yatengejjanga butengezzi awo kungulu.

Yagezaako yebbike agwe wansi mu mazzi naye nga tasobola. Yalemwa okukka okugenda okulya ne munne ekyeggulo.

7

Oluvanyuma ennyo, Anansi yasala amagezi. Yateeka amayinja mu nsawo z'ekikooti kye asobole okuzitowa obulungi yebbike mu mazzi. Ggwe wamma nno yali mugezi!

Yalaba emmeeza ya Wanfudu ng'ejjudde omuddo omulungi era oguwooma wamu n'ebika by'emmere ebirala bingi ebiwooma. Amaddu gaamukwata mayitirivu.

8

Nabbubi aba anateera okutandika okulya ku mmere eyo empoomu bw'etyo, Wanfudu n'amugamba nti, "Anansi, olowooza ogenda kulya emmere ng'oli mu kkooti bw'otyo? Wano ewange si bwe tutyo bwe tukola."

Anansi nga tamaze na kulowooza yaddamu nti, "Oh, ddala kituufu Wanfudu, oba mbadde ndowooza ki?" Amangu ago ekkooti ye n'agiggyako.

9

Naye olw'okuba nti yali takyalina mayinja mu nsawo ye okusobola okumuwanirira okubeera mu mazzi ng'azitowa, Anansi yabbulukuka bubbulukusi n'addayo waggulu ku mazzi.

Anansi yateeka omutwe mu mazzi n'alengera Wanfudu ng'alya emmeere yonna eyali empoomu ennyo.

10
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Anansi Ne Wanfudu
Author - Ghanaian folktale
Translation - Joseph M. Katabaro
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Read aloud