Omwana wa Kumbana
Ingrid Schechter
Razaque Lázaro Quive

Lwali lumu waliwo omusajja nga bamuyita Kumbana.

1

Weyalina myaka 25, yagwa mukwano ne omuwala gwe bayita Zangane

2

Bali bona emyaka 3, naye teyalina ssente kumuwasa.

3

Lwali lumu nasanga nti ali lubuto, kubanga tebakozesa kapila.

4

Akana akawala kazalibwa, ne bakatuma Kheri.

5

Naye Kumbana yali akyasoma, nga Zangane alina omulimu mukibuga awala, ela bali balela wanjawula.

6

Oluvanyuma, Zangane yafuna omwagala omulala. Yajja nabela naye ne akawala.

7

Kumbana yamenyeka omutima. Yakaba na kaba kubanga ba mwawukaniza ne muwala we.

8

Ekisela kya tambula. Kumbana naye nafuna yo omwagalwa ela, bali babela bona wadde nga tebazala baana.

9

Kati Kheri yali tayagala taata we mupya wade nakatono. Teyali musanyuffu kubanga yali omukuba.

10

Ela weyaweza emyaka 12, mama we yasalawo okumuzayo abele ne taata we owadala.

11

Olwo Kumbana ne Kheri ne babela basanyufu bombi neera.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Omwana wa Kumbana
Author - Ingrid Schechter
Translation - Sunitah Mirembe
Illustration - Razaque Lázaro Quive
Language - Luganda
Level - First sentences