Anansi, Enkwale Ne Waggoonya
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Olwali olwo ne wagwa enjala ku kyalo ekimu nga nnyingi. Tewali n'omu yalina kyakulya okuggyako enkwale. Buli ku makya enkwale zaabukanga ne zigenda ewala ennyo ewaali omuti gw'omutuba. Omuti ogwo gwali wakati mu mugga omunene.

Zaabukanga ne zikomanga n'obubala bw'oku mutuba bwe zaaleteranga abaana baazo. Anansi bwe yalabanga ku bubala obwo ng'amaddu gamutta era nga n'amalusu gamuyiika. Yabeeranga awo ne yeebuuza nti ayinza kwefunira atya ku bubala obwo?

1

Yalooza eky'okukola. Kye yava nno afuna envumbo y'enjoki n'agyesiiga ku lubuto lwonna. Bwe yamala, n'akwata oluggo n'agenda okulaba akyalire enkwale. Bwe yatuukayo n'agamba enkwale nti, "Nsaba kunyamba. Mumpe ku lyanda ly'omuliro nange nsobole okukuma ogwange ewake."

Enkwale ziba zimutoolera eryanda okuva mu kyoto, Anansi n'asembera mpola n'atuula ku kibala ekali kisingako obunene ne kikwatira ku nvumbo gye yassa ku lubuto lwe. Bwe baamuwa omuliro ne yeebaza era n'ayanguwa agende yeeriire ku kibala.

2

Wabula olw'okuba nti yatwala ekibala kimu, yawulira nga tekimumaze. Yaddayo omulundi ogw'okubiri n'akola nga bwe yali akoze okusooka. Bwe yaddayo omulundi ogwokusatu, enkwale ne zitandika okumwekengera. Kye zaava zimubuuza nti, "Lwaki okomangawo okutusaba omuliro?"

Anansi n'adammu nti, "Buli bwe mba ng'atuuka ewaka ng'eryanda lizikidde." Ko enkwale, nti, "Olimba! Oyagala bwagazi kulya mbere yaffe!" Anansi n'addamu nti, "Si bwe kiri!" Bwe yamala okwogera n'atandika okukaaba.

3

Enkwale zaawulira nga zimukwatiddwa ekisa. Obudde bwe bwakya, buli nkwale n'ewa Anansi ekyoya. Anansi yabuuka n'enkwale ne bagenda muti gw'omutuba mu makkati g'omugga. Anansi bwe yalaba ebibala by'omutuba nga bimusaaliza n'ayagala byonna bibeere bibye.

Buli mulungi enkwale gwe yahezagezangako okunoga ekibala, nga Anansi aleekaana nti, "Ekyo ekibala kyange, nze nasoose okukiraba!" Bw'atyo ng'akinoga ng'assa mu nsawo ye. Okukkakkana ng'ebibala byonna abitutte ng'enkwale tezirina na kimu.

4

Nabbubi yagenda okulaba ng'asigadde yekka nga ate nga n'obudde butandise okuziba. Kye yava agamba muli nti, "Bwe mba saagala kubeera mu muti guno obulamu bwange bwonna, nteekwa okubuuka mu bbanga ng'enkwale bwe zikola."

Kye yava amira omukka n'abuuka omulundi gumu be kku! Okukkakkanga ng'agudde wakati mu mugga awaali bawaggoonya.

5

Waggoonya omu ky'ava abuuza mu ddoboozi eddene nti, "Kiki ekyo? Kirabika tufunye akanyama akawoomu ak'okulya!"

Anansi n'agamba Waggoonya nti, "Mbeegayiridde bambi temundya!" Anansi kye yava atandika okukaaba nga bw'agamba nti, "Nange ndi omu ku mmwe, temukimmanyi? Nabulira mu kiseera kya bajjajjammwe era tewaali yasoobola kunzuula. Mmwe baganda bange be nsoose okusanga!" Yakaaba nnyo okutuusa bawaggoonya lwe baawulira nga bamusaasidde bambi.

6

Waggoonya omukulu n'agamba Anansi nti, "Tujja kumanya oba ng'oli omu ku ffe singa onoosobola okulya n'okuwuuta ettosi nga ffe bwe tukola." Bwe batyo ne bamuwa akawuwa akaali kajjude amazzi amakyafu.

Anansi kye yava agamba nti, "Mukoledde ddala nga jjajjange omukazi bwe yakolanga." Wabula, Anansi, yasima ekinnya mu ttaka n'okugulu kwe okw'emabega, era n'abotola n'ensuwa n'okugulu kwe okw'omu maaso. Yabeeranga yeefuula nti anywa ng'eno amazzi gayita mu kituli ekyali mu nsuwa nga gakkirira mu kinnya kye yali asimye.

7

Bwe yali awaayo akasuwa n'agamba nti, "Mpoomeddwa nnyo!" Bawaggoonya kye baava baamugamba nti, "Kati tutegede nti oli omu ku ffe."

Bwe batyo ne bamukkiriza okusula nabo mu kinnya kyabwe ekilo ekyo. Baba bagenda okwebaka, Anansi n'abagamba nti, "Enkya ku makya nja kubanyumiza ebikwata ku bulamu bwange."

8

Enkeera nga n'obudde tebunnaba kutangaala, Anansi n'azuukusa omu ku bawaggoonya n'amugamba nti, "Njagala kugenda kunona mukyala n'abaana bange emitala w'mugga basobole okunnyamba okubanyumiza obulamu bwange. Nkusaba onnyambe ng'abalala tebannaba kuzuukuka."

9

Waggoonya teyasanyuka olw'okumuzuukusa ku makya. Anansi n'ayonera o kugamba waggoonya nti, "Nkusaba onnyambe, ggwe owunga okunsinga."

Waggoonya yakkiriza era Anansi ne yeeweeka ku mugongo gwa waggoonya okutuusa emitala w'omugga. Olwatuuka emitala n'abuuka mangu ku waggoonya era n'amugamba nti, "Nkomawo mangu, tovaawo awo!" Bw'atyo n'abulira mu bisubi n'agenda.

10

N'okuva olwo, Waggoonya akyalinda Anansi awo emitala w'omugga ng'akanudde amaaso n'ennyindo ze ng'aziireegudde.

11
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Anansi, Enkwale Ne Waggoonya
Author - Ghanaian folktale
Translation - Robert Ssebukyu
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Read aloud