Wandiga eyakoowa obulamu bw'ekibuga
Mohammed Alhaji Modu
Kenneth Boyowa Okitikpi

Wandiga yali abeera mu kibuga. Yali akooye obulamu bw'ekibuga n'asalaawo agende mu kibiira.

Ku lugendo lwe yasisinkana Wakayima eyali amazze ennaku nga talya.

1

Yabuuza Wakayima emirundi gy'omuddiriŋŋana nti, "Ow'oluganda wakayima oli otya? Ow'oluganda Wakayima oli otya?"

Wakayima y'amuddamu nti, "Tombuuza mirundi gya muddiriŋŋana. Bako kyokola okuwonya enjala yange."

2

Wandiga bwe yawulira bino, n'atandikiirawo emisinde.

Mbagirawo, yatuuka mu kisibo kya Bawampologoma. Wakayima yali amugoba.

Kunkomerero, ne wakayima yatuuka ku kisibo kya bawampologoma nasiba, naaffumuliza Wampologoma enfuufu mu maaso.

3

Wampologoma yabuuza Wakayima nti, "Tetusobola kufuna ddembe ne mubisibo byaffe? N'onfumuliza enfuufu mu maaso!"

Wakayima n'amuddamu nti, "Kabaka, sigendereede kuyisamu maaso. Ngoba mmere yange."

4

Wampologoma n'amuddamu nti, "Oli mmere gyendi nawe Wakayima. Nkugobyeko? Gwe okugya gyendi. Toonenya gyebuggya."

5

Oluvanyuma Wampologoma n'agamba Wandiga nti, "Lwaki wazze mu kibiira?"

Wandiga n'amuddamu nti, "Nazze kubanga ndi musawo wakinansi."

6

Wampologoma n'amugamba nti, "Ntegekera eddagala ly'ekinansi nkakase nti oli musawo." Wandiga n'amuddamu nti, "Eddagala lyange lyabbeeyi."

Wampologoma n'amugamba nti, "Ekyo sikizibu, kyonna kye kyetagiisa. Teri kitasoboka gyendi."

7

Wandiga n'amugamba nti, "Eddagala mattu ga wakayima." Wampologoma nasalako okuttu kwa Wakayima nakuwa wandiga.

Wandiga nakuteeka mu jjaga y'omubiisi nagiwa Wampologoma.

8

Wampologoma nakulya era nawomerwa nnyo.
N'abuuza Wandiga nti, "Kisoboka nze okufuna nokwokubbiri?"

9

Wandiga n'amuddamu nti, "Ye, kisoboka kabaka wange." N'olwekyo Wampologoma nasalaako okuttu kwa Wakayima okwʻokubiri nakuleetera Wandiga.

Wandiga n'akuteeka mu jjaga y'omubiisi nakuwa Wampologoma.

10

Wampologoma n'agamba nti, "Kisoboka okufuna eddiba?" Wandiga n'amuddamu nti, "Ndowooza kisoboka kabaka wange."

Wakayima bwe yawulira bino natya okufa nadduka.
Wampologoma namugoba.

11

"Bwe buba ng'obulamu bw'omukibiira bwe butyo, kisingako nzire ekka." Wandiga n'agamba.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Wandiga eyakoowa obulamu bw'ekibuga
Author - Mohammed Alhaji Modu
Translation - Sharon Miriam Katana
Illustration - Kenneth Boyowa Okitikpi
Language - Luganda
Level - Longer paragraphs