

Olwatuuka ng'e nkuba tetonya okumala omwaka mulamba. Emitti gya wotoka era ne gikala. Emigga gyakalira era n'a mazzi negagwerera. Abantu ne bawansolo baatandika okuffa olw'e njala n'e nyonta.
Wampologoma ne wanjovu nga abakulembeze ba Bawansolo batuula okukubaganya ebirowoozo n'o kusala empenda kumbera eyali ebafukidde kagumba wegoge. wampologoma yagamba, "tugenda kukakana tufudde olw'e nyonta.ka tukube olukiko ffenna tukubaganye ebirowoozo ku kyo' kusima oluzzi."Wanjovu yakkiriza era naagenda okusasanya amawurire eri Bawansolo bonna.
Bawansolo bonna okujjako Wakayima batula okukubaganya ebirowoozo kumbera.Wampologoma yagamba "mulabe baganda bange ne banyinaze,omwaka gunno enkuba tetonye. buli omu affa olwe'njala ne' nyonta.kakati katukkanye ku kyokusima oluzzi ffenna tusobole okulunywa ngamu.
Bawansolo bonna bakkiriza era mbagirawo ne bakwata enkubi, ebitiyo ne batandika okusima. nebasima nebasima.oluvanyuma batuka kumazzi. wampologoma yabagamba", Lwaki Wakayima tazze mu bulungi bwansi? tagyano kunywa kumazzi gano!
Oluvanyuma Wakayima yagya nalaba oluzzi. naayogera nti "omukuumi, omukuumi! kuluzzi! tewali kye yawulira. oluvanyuma naagenda muluzzi,Naanywa ku mazzi era naamansira ko katono okwetolora oluzzi.
Enkera walwo,Bawansolo bwe bagya, ne balaba nga oluzzi lwabwe lutabanguddwa. amazzi gaali gafuuse bisooto. nebabuuza, "ani yandi yinziza okukola ekintu nga kino?" omu kubbo nagamba, "atekwa kuba wakayima.bwetwali tusima oluzzi teyalabikako."
Era Bawansolo ne basalawo okulekawo omukuumi akuume oluzzi. Balonda Wazike akuumire eriiso egyogi ku luzzi. era obudde webwaziba Wazike yaliyo kuluzzi, Wakayima nagya nga bwayogera,"Omukumi! omukumi! ku mazzi!" Wazike naddamu nti "gyendi!" era Wakayima naasembera nalamusa ku Wazike,"nzize munywanyi, era ndese ekyo abazira kyebagara enyo okulya! "Wazike namuddamu nti, "sembera tukira be."
Wakayima yalina omubissi gwe njuki. nagenda eri Wazike, "yee munywanyi, lozako kubino!" Wakayima na muwa omubissi. era nassena ko kumazzi okuva muluzzi naganywa. mbagirawo Wakayima nga alekulira, Wakibe yali attuse era na mulaba.
enkera walwa, Wampisi naggenda nagamba Bawansolo nti Wakayima yanywedde kumazzi. era nebalonda Wanfudu akuume oluzzi. Wakayima yayingirawo nya bwagamba nti "omukuumi omukuumi!" nzize kunywa kumazzi, era wanfuddu natamudamu
Wanfudu yatuuka kuluzzi ngabukyali ekiro ekyo. era yali yekwese mu njazi. era mangudala Wakayima bwe yatandika okugenda mu mazzi,Wanfudu yabaka Wakayima okugulu.era teyayogera kintu kyonna, era yatuula nalinda okutusa omusana bwe gwavaayo.
Bawansolo we bagya, balaba Wanfudu nga akutte Wakayima. nebayitta bannabwe okusalawo kki ekyo' kolera Wakayima. Bawansolo bonna ngabamaze okutuuka, Wampologoma na babuuza, "Tukolere kki Wakayima?"
Wanfudu naagamba," Wanjovu amukwate amukubbe ku njazi." Bawansolo bonna nebakkiriziganya.Wakayima nagamba," mukama wange Wampologoma, okimanyi bulungi nti Bawakayima te baffa nga bakkubiddwa kunjazi, Wakayima ayinza kuffa nga assuliddwa mu vvu." era wampologoma nagamba Wanjovu amukasuke mu vvu.
oluvanyuma nga Wakayima abulidde mu vvu, Wanjovu yamukwata namukasuka. era Wakayima Bwe ye ggundawo naakola ekire kyenfufu. era enfufu ne' samuka buli wamu.
Enfufu bwe yakakana, Bawansolo ne batunulatunula. Wayima nga adduse! nebakizuula nti Wakayima yali abateze akakodyo nte.

