Gemo ne Nelisoni baali baluganda.
Gemo y'agendanga ku somero buli lunaku. Naye ate Nelisoni ye teyagendanga kusoma.
Taata we y'agendanga okukola mu kibuga. Maama wabwe ye yalinga akola mu nimiro.
Olunaku olumu, Taata we yaleka sente ku meeza. Nelisoni sente n'azibba nazitwala!
Taata kino kyamunyiza nnyo n'ayagala okumukuba.
Naye Nelisoni nadduka n'agenda. Era yasiiba atambula yeka mu luguudo olunaku lwona.
Yagenda n'atuula wansi w'omuti ekiro kyona.
Gemo mugandawe y'amusanga wansi w'omuti, namutwala ewaka.
"Lwaki wabbye sente?" Taata we bweyamubuuza.
"Lwaki wadduse n'ogenda?" Maama we bweyamubuuza.
"Nasobezza, nasobezza, nasobezza," Nelisoni bweyategeeza era sente n'azizaayo.
Era bona nebamusanyukira era nebamugwa ne mu kafuba.