Anansi ne Wampungu
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Nabbubi ayitibwa Anansi ne Wakayima baali ba mukwano. Baabeeranga ku kyalo ekyemirembe mu nsozi. Wakayima yalina ennimiro ennene nga mulimu enva endiirwa n'ebibala.

Newankubadde nga Wakayima yaagabananga ne mukwano gwe ebintu ebyo nga musanyu, Anansi ye yamukwatirwanga obuggya era nga si musanyufu.

1

So Anansi yayiiya engeri gy'ayinza okutwalamu ennimiro ya Wakamyu. Ebbbanga teryalwa, Wakayima n'asigala nga munaku era nga talina w'abeera.

Anansi olwo yali afuuse nnannyini nnimiro ya Wakayima omwali enva endiirwa n'ebibala.

2

Anansi yatwala enva endiirwa n'ebibala mu katale okubitunda. Yatunda ssente nnyingi nnyo nga zijjuza n'ekisero ekinene.

Yatoola ku ssente ezo n'agulako kasooli ow'okutwala amutwalire ab'eka. Kasooli oyo yamuteeka waggulu ku ssente mu kisero.

3

Nabbubi ne yeetikka ekisero kye n'addayo eka nga bw'ayimba.

Yagenda aloowooza ku bintu bye yali agenda okugula mu ssente ze.

4

Aba akyali mu kkubo, obukuba kuba ne butandika okufuuyirira. Era okukkakkana ng'enkuba eyiikidde ddala.

Anansi n'ateka ekisero ku mabbali g'ekkubo, ne yeggama wansi w'omuti, naye ng'amaaso tagaggye ku kisero kye eky'omuwendo.

5

Enkuba yeeyongerera ddala okutonnya era Anansi n'awulira ng'empewo emufuuwa nnyo ate ng'atobye. Kye yava asalawo okuddukira mu kituli.

Kye yava agamba muli nti, "Ŋηenda kubeera, mu kituli kino okutuusa enkuba ng'ekedde. Kasita ssente zange nazibiseeko kasooli, enkuba tezikuba."

6

Nga wakayitawo akaseera katono, Wampungu aba ayitaayita n'alengera ekisero ku mabbali g'ekkubo.

Wampungu yalaba nga mu kisero mulimu ssente ne kasooli. Wampungu n'abikka ekisero n'ebiwawaatiro bye okutuusa enkuba lwe yakya.

7

Anansi yalaba Wampungu ng'atudde ku kisero kye. N'agenda n'amugamba nti, "Mukwano weebale kunkuumira kisero kyange enkuba n'etekikuba."

Ko Wampungu nti, "Anansi, simanyi mpulidde bulungi ky'ogambye? Ekisero kino kyange. Nkisanze wano ku mabbali g'ekkubo!"

Anansi yawulira ng'atabuse, era n'addamu nti, "Nkugambye ekisero ekyo kyange!"

8

Mu busungu obungi, Anansi n'agenda ew'omwami okuwaabira Wampungu. Naye Wampungu n'agamba owami n'abataka abaaliwo nti, "Kisoboka kitya omuntu okuleka ekisero ekijjude ssente ne kasooli emabbali g'ekkubo nga tewali akikuuma?"

Ko Anansi nti, "Ekisero kyange nabadde nkiraba, ssente ezo ne kasooli byange!"

Wampungu n'addamu nti, "Ekisero nze nabadde nkikuumye we wajjidde n'ogamba nti kiyo!"

9

Omwami n'abataka bwe baamala okuwuliriza enjuyi zombi, ne basaba Anansi ne Wampungu bafulumeko ebweru.

Ensonga eyo baagyogerako akabanga akawera. Oluvannyuma baatuuka ku ky'okukola.

10

Ne batumya Anansi ne Wampungu. Omwami n'agamba nti, "Tukkiriza ebigambo bya Wampungu nti bituufu era si mubbi. Anansi olabika ogezaako kutwala kintu kitali kikyo."

Anansi yawulira nga bimusobedde era n'atulika n'akaaba.

11

Amawulire ne gabuna wonna nti Anansi gumusinze. Anansi aba atambula okuvaawo n'awulira nga Wakayima amusekerera nnyo nnyo.

Wakayima yaddayo mu nnimiro ye n'alima enva endiirwa n'ebibala. Wabula ye Anansi yaddamu n'ayavuwala ate nga talinaayo mukwano gwona.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Anansi ne Wampungu
Author - Ghanaian folktale
Translation - Robert Ssebukyu
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Read aloud