Anansi Eyaleetera Abantu Engelo
Ghanaian folktale
Wiehan de Jager

Edda ennyo katonda w'ebire eyayitibwanga Nyaama yakuumiranga engero zonna mu ssanduuko ey'embaawo gye yasibiranga waggulu mu bire.

Abanttu ku nsi tebaalinga ngero za kunyumya era baabeeranga mu nnaku. Kale nno baasaba Anansi eyali omugezi abayambe okufuna engero ezo.

1

Nabbubi yazinga oluwuzi lwe oluwanvu obulungi ate nga lukwatira n'awalampirako okutuuka mu ggulu. Anansi bwe yatuukayo n'agamba katonda nti, "Nsaba kumpa ku ngero ezo ssebo."

Wabula Nyaama yamusekerera busekerezi nga bw'amugamba nti, "Engero zino nga za bbeeyi nnyo, ggwe kannabbbi obunabbubi tojja kusobola kuzisasulira."

2

Anansi kye yava amubuuza nti, "Neetaaga kusasula ki okuzifuna?" Nyaama n'amuddamu nti, "Olina okundeetera ensolo enkambwe ezitalabikalabika ssatu. Engo ey'amannyo amasongovu ng'effumu, Ennumba eyokya abanttu n'omusotta ogumira abantu nga balamba."

Bwe yamala okwogera ebyo n'aseka nnyo nnyo ng'alwooza nti engero ze tewali asobola kuzitwala.

3

Anansi yakkirira mpola mpola ku buwuzi bwe n'akomawo ku nsi. Yalowoolereza nyo okutuusa lwe yafuna eky'okukola. Yasima ekinnya ekiwanvu, n'akibikkako amatabitabi n'ettaka ne kiba nga tekisobola kulabika. Bwe yamala, n'agenda ewaka okulya ekyeggulo.

We bwakeerera ku makya, era nga bwe yali alowoozezza, waaliwo Wango eyali agudde mu kinnya. Wango yamusanga yeetaala ng'atakulatakula ekinnya alabe bw'avaayo naye nga tasobola.

4

Anansi n'agamba engo nti, "Mukwano gwange, ka nkuyambeko oveeyo mu kinnya. Galamira ku buti buno ndyoke nkusikeyo."

Anansi yazingirira Wango ng'ali ku buti n'oluwuzi lwe era na'musitula n'amulaga katonda w'eggulu.

Wabula ye Nyaama yaseka busesi n'agamba nti, "Ebirala ebibiri bye nakutumye biriwa?"

5

Anansi teyalwa n'akomawo ku nsi anoonye ensolo ey'okubiri gye baali bamutumye. Yalowoolereza nnyo okutuusa lwe yafuna amagezi.

Yafuna endeku ng'ejjudde amazzi n'agenda mu kifo ennumba we zibeera. Yayiwa amazzi agamu mu kirombe ky'ennumba.

Bwe yamala n'asala olulagala n'alwebikka ku mutwe ate amazzi amalala gonna n'ageeyiira.

6

Awo ate kye yava ayita ennumba nti, "Abange mmwe bawannumba, enkuba yiiyo etandise okutonnya, mwanguwe muyingire mu ndeku yange muwone enkuba okubakuba."

Ennumba tezaagala nkuba era bwe zityo zonna zadduka ne ziyingira mu ndeku ya Anansi.

7

Amangu ago Anansi n'asaanikira bulungi endeku n'oluwuzi lwe ennuma zireme okutoloka. Zaawuuma nnyo naye nga tezisobola kufuluma.

Nazo yaziktwa n'azitwala mu ggulu n'aziraga katonda w'eggulu. Nyaama ky'ava amugamba nti, "Naye ate ekisembayo kiri wa?" Ku mulundi guno yali takyaseka nnyo nga bwe yasooka okukola.

8

Anansi yakomawo ku nsi. Yalowoolereza nnyo nnyo naye nga talaba magezi. Kye yava yeebuuza ku mukyala we era n'amuwa amagezi.

Bombi baafuna ettabi eddene obulungi ate nga ggwanvu bulungi. Bwe baatuuka okumpi n'omugga Wamusota we yabeeranga, ne batandika okukaayana naye nga bwe bagamba nti, "Ettabi likusinga obuwanvu!"

Ko Wamusota nti, "Nedda terinsinga!"

Ko bo nti, "Yee likusinga!"

9

Wamusota teyalwa n'ava mu mazzi okulaba bano kye baali bakaayanira. Anansi n'agamba Wamusota nti, "Mbadde nga nkayaana ne mukyala wange ng'amba nti ettabi eryo likusinga obuwanvu, naye nze sikikiriziganya naye."

Ko Wamusota nti, "Mukiraba bulabi nti ettabi eryo ndisinga obuwanvu. Ndi muwanvu nnyo! Ndi munene ddala. Ggwe sembeza ettabi kumpi nange opime tulabe!"

10

Anansi naye teyalwa n'akola ekyo.

Yasibira Wamusota ku ttabi ly'omuti asobole okubeera nga yeegoldde bulungi.

Bwe yamala okumusiba obulungi, n'amsitula n'amutwala mu ggulu.

11

Nyaama yalina okukkiriza nti Anansi yali asasudde byonna bye baamusalira. Kye yava agenda mu ssanduuko ye n'agiggula n'aggyamu engero zonna n'azikwasa Anansi.

Anansi yakka ku nsi n'engero zonna mu buwanguzi obw'amaanyi. Engero ezo yazisoma ne mukyala we n'ensolo endala zonna okwo nga kw'otadde n'abantu.

Engero ziba za kusomera bantu so si kutereka mu ssanduuko.

12
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Anansi Eyaleetera Abantu Engelo
Author - Ghanaian folktale
Translation - Rebecca Kuteesa
Illustration - Wiehan de Jager
Language - Luganda
Level - Read aloud