

Olunaku lumu, maama yaleeta ebibala, ennanansi, amenvu, emicungwa, emiyembe n'amapeera.
Yabiwanika ku kabada waggulu.
Twabuuza maama nti, "Ffe tunaalya ddi ku bibala?"
Maama yaddamu nti, "Tujja kulya olwaleero."
Muganda wange Kayima wamululu nnyo. Yagenda alumaluma ku buli kibala.
Ebisinga yeyabirya.
Bweyamala okubirya ye nagenda okuzannya.
Muto wange omulala yagamba nti, "Mazima labayo Kayima kyakoze!"
Kayima si muntu mulungi ate alina nnyo omululu.
Maama yanyigira nnyo Kayima.
Era naffe twanyigira nnyo Kayima.
Kyokka yye Kayima nga teyefiirayo.
Muto wange yabuuza maama nti, "Kayima togenda kumubonereza?"
"Kayima, olina okutwentondera mangu ddala."
Kati kayima tawulira bulungi.
Kayima yayogera mu kaama nti, "Olubuto lunnuma nnyo."
Maama yali yakitegedde dda nti olubuto lujja kumuluma.
Kati ebibala bibonereza Kayima!
Oluvanyuma Kayima yatusaba tumusonyiwe.
Yagamba nti, "Sikyaddamu kubeera na mululu mulundi mulala."
Naffe twamusonyiwa.

