

Waliwo omukyala yayitibwanga mukyala Biraka. Yalina olubuto ;.
Yagendanga okunywa eddagala era omwamiwe yamuwerekerangako.
Abasawo basokanga ku basomesa ebikwata kukwefaako nga bali mbuto nga okukuuma obuyonjo, okwejanjabisa, okusula mukatimba k'ensiri n'ebirala bingi nnyo.
Bwebamalanga okusoma, buli omu ng'atwala akataboke ew'omusawo akeberebwe.
Omukyala yayoya ensujju era omwami we yamutwala nagimugulira.
Yamukubirizanga okumira eddagala lyebaafunanga okuva mudwaliro.
Mukyala Biraka bweyatuuka okuzaala yategeeza omwami we namutwala mudwaliro.
Yazaala bulungi Omwana owobulenzi era abasawo baamuwa obugoye bw'omwana nga bamukulisa okuzaala.
Ate omwami we yamwebaza okumuzaalira omusika n'amusuubiza okumugulira ettaka.
Baabasiibula nebadayo ewaka bulungi nga basanyufu nnyo.
Bwebaatuuka ewaka baasanga ssenga w'omwana abalindiridde ng'afumbye ebyenda n'ettooke.
Yamutwala okunaaba.
Era bweyamala n'amugabula emmere gyeyali afumbye. Yalya bulungi nakuta neyebaza mulamuwe nti webale okufumba nnyabo.

