Emirimu Abantu Gyebakola Mu Kyaalo Kyewaffe.
Annet Ssebaggala
Sandy Campbell

Abantu abamu bakola mirimu gyawaka. Okufumba, okwooza, okulabirira abaana.

1

Abamu balina amaduuka. Batunda engatto, engoye, ebyokulya nebirala bingi.

2

Abamu bakola gwa kusomesa. Basomesa abayizi okubala, okusoma n`okuwandiika.

3

Abantu abamu bakola gwa dereeva. Basaabaza abantu mubitundu ebyenjawulo.

4

Abantu abamu batunda mu butale. Basuubuza engoye, emmere, ebibala, enva nebirala bingi.

5

Abamu basawo. Bajanjaba abalwadde abakulu nabato.

6

Abamu balimi. Balima ebibala, emmere, n`enva.

7

Abamu balunzi. Balunda ebisolo nga embuzi, endiga ne`nte.

8

Abamu balunda enkoko ezibiika amagi.

9

Ggwe okola mulimu ki?

10
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Emirimu Abantu Gyebakola Mu Kyaalo Kyewaffe.
Author - Annet Ssebaggala
Illustration - Sandy Campbell, Caroline Lentupuru, Magriet Brink, Jesse Breytenbach, Vusi Malindi, Catherine Groenewald, Melany Pietersen, Rob Owen
Language - Luganda
Level - First paragraphs