Langi Eya Kiragala
Annet Ssebaggala
Sue Kramer

Langi eya kiragala nnungi nnyo.

1

Langi eya kiragala ereeta obulamu.

2

Ebikoola bye miti birabika bulungi nnyo. Bya kiragala.

3

Munnimiro waliyo ebirime ebya kiragala.

4

Ku luguudo, ebitaala bwebyaka kiragala ebidduka byona ne bisimbula.

5

Engoye zemizanyo nazo za Kiragala.

6

Olujja lwewaffe lwonna lwa kiragala.

7

Langi eya kiragala nnungi nnyo!

8
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Langi Eya Kiragala
Author - Annet Ssebaggala
Illustration - Sue Kramer, Rijuta Ghate, Padmanabha, Wiehan de Jager, Sandy Lightly, Benjamin Mitchley, Sean Whitehead
Language - Luganda
Level - First sentences