

Awo olwatuuka, ne wabaawo omusajja ku kyalo ekiyitibwa *Buluuli* eyali ayitibwa Andulu.
Omuvubuka ono Andulu yali talina ky'akola ku kyalo, okujjako okubba emmwaanyi z'abantu wamu n'ebintu ebirala. Andulu yali yasomako okutuuka mu kibiina eky'okuna mu ssomero eriyitibwa *Kalebule Primary School*
Ekyamuddusa mu ssomero yali nsonga ntono nnyo. Yali atudde mu kibiina, omusomesa eyali asomesa ayitibwa Kuddu n'alaba empale ya Andulu nga eriko ekituli. Omusomesa yalagira Andulu afulume ekibiina asooke addeyo awaka agambe bazadde be empale bagitunge.
Andulu bweyagenda awaka okutuusa kati, taddangayo ku ssomero. Ebiseera ebyo yali alina emyaka kkumi. Naye waayitawo emyaka emirala kkumi nga taddangayo ku ssomero.
Ku kyalo Buluuli kw'aliko ekyuma, nga era kigambibwa nti kyaleetebwa bazungu okuva e China. Ekyuma kino abantu baakissangamu ebinusu, ne bazannya, basobole okuwangula ensimbi ezisingako kw'ezo.
Ne Andulu bw'atyo n'atandika okuzannyisa ekyuma kino naye sente zeyali assaamu, yali abba nzibe.
Lumu kitaawe eyali ayitibwa Mulekwa, yamuwa sente, emitwalo abiri asobole okusuubula emmwaanyi.
Andulu sente bwebaazimuwa n'agenda nazo zonna, n'azissa mu kyuma asobole okufuna ennyingi. Eky'omukisa omubi, sente zonna zaamuggwaako nga talina ky'afunye!
"Lindako, obudde buzibe tukwate embazzi n'ensuuluulu, tugende tukoone ekyuma ekyo, tujjemu sente zonna." Bwebatyo nebakola bwebatyo.
Naye ku makya omusajja eyali akolera awo okumpi n'ekyuma bwe yatuukawo n'asanga ng'ekyuma baakimenye n'akubira poliisi essimu. Omusajja oyo yali ayitibwa Lukaku.
Poliisi bwebajja, bajja n'embwa eziwunyiriza. Naye embwa ezo zaasibira ku mulwango gwa Luwalira mukwano gwa Andulu.
Andulu yeyasooka okuwulira, n'afuluma n'ensawo eyalimu sente,n'atandika okudduka naye embwa n'abantu abaali ab'okukyalo abaali bakungaanye, ne bamusimbako nga bwebalekaana nti, "Omubbi wuuyo! Omubbi wuuyo! Omubbi wuuyo!"
Mu kaseera ako Luwalira eyali asigadde mu nju nga akyebase, yasisimuka ye n'adduka n'agenda nga tebamulabye.
Poliisi yatuuka, n'ejjamu omulambo n'egutwala mu ggwanika e Kabulengwa nga bw'egenda mu maaso n'okunoonyereza. Era ne kaakati bakyanoonyereza.
Andulu yali akyadduka n'agwa mu kinnya kya kabuyonjo! Embwa bwezakkayo wansi ng'abantu tebannatuuka, ne zimulumaalu n'afa!

