

Mwami Kasule yagenda alabe ku nkokoye eyali emaamidde ku magi okumala ennaku 21. Mukulu Kasule yayita mutabaniwe Kalule nti, "jangu olabe."
Kalule yajja adduka, n'ayingira mu kiyumba ky'enkoko. Kitaawe yajja amagi gonna ku nkoko n'agassa mu kibbo.
Enkoko n'ekaaba nti, "coo cooo cooo!"
Yajagalaza nnyo ebiwawaatiro n'ejja ng'eyagala kubabojja. Kalule yeekwata ku kugulu kwa kitaawe n'alekaana nti, "taata! enkoko, enkoko etulya!"
Mukulu Kasule yatoola mu kibbo eggi limu n'aliddiza enkoko n'erimaamira.
Awo kwekugamba Kalule nti, "sirika, era tunuulira nnyo amagi agali mu kabbo."
Kalule yasitama wansi n'atunuulira nnyo amagi.
Yagenda okuwulira ng'enkoko ekaaba nti, "kko kko kkoo!" Kalule yabuuka ng'adda waggulu ne wansi.
Yakuba mu ngalo ng'aseka bw'agamba nti, "Hiii hiii hiiii.. taata amagi gakaaba."
Bwe waayitawo akaseera, Kalule agenda okuwulira nga waliwo ekibojja munda w'eggi. Erimu mwalimu akaana k'enkoko.

